• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obuganda buwuumye nga Omutanda ajaguza emyaka 29 nga ali ku Nnamulondo

Gambuuze by Gambuuze
August 1, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obuganda buwuumye nga Omutanda ajaguza emyaka 29 nga ali ku Nnamulondo
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Obuganda buwuumye bwebubadde bujjukira nga bwegiweze emyaka 29, nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ng’alamula ensiiye.

Omukolo guno ogwebyafaayo gwayindidde mu Lubiri e Mmengo ku Ssande wansi w’omulamwa gw’ ‘Okulwanyisa Mukenenya mu bizinga nga abaami be basaale.’

Ssabasajja Kabaka mu Lubiri yaweekeddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga,  Agnes Nabaloga era yayaniriziddw Kamalabyonna  Charles Peter Mayiga, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa n’amwanjulira amakula.

Oluvannyuma Omutanda yalamusizza ku Mujaguzo era nayolekera Ekiwu nga akulembeddwamu ab’ekika ky’e Mbogo abamukongojja, bwatyo n’akkalira ku Namulondo ya bajajjaabe wakati mu kusanyusibwa okuva mu bantu ab’enjawulo.

Omuteregga yayogeddeko eri Obuganda n’alagira abantube bongere amaanyi mu kulima Emmwaanyi, ate bazongereko Omutindo olwo baziganyulwemu ekiwera.

Ccucu yagambye Emmwaanyi kirime kikulu nnyo mu Bwakabaka ne mu Uganda eyawamu nga kyekisobola okuyambako okuggya abantu mu bwavu.

Lukoma Nnantawetwa yalaze nga ebibiina by’obwegassi bwebigenda okuyambako ku bantu abalima mu bungi, okusuubula,n’okukuuma omutindo gw’emmwaanyi.

Nnamunswa yeebazizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo abaliko kyebakoze mu kutaakiriza emmwaanyi.

Beene ayagala wabeewo embeera esobozesa abalimi okufuna ebikozesebwa ebituukiridde mu bulimi,omuli okufuna endokwa ez’omutindo, n’ebijimusa, ate n’okusaawo enkola erondoola ebbeyi y’Emmwaanyi mu ggwanga.

Omutanda mu ngeri ey’enjawulo yasiimye ebifaananyi bya ba Ssekabaka ba Buganda 31 ebyasigiddwa era oluvannyuma yagabudde abantu be n’ekijjulo ky’ente eyabadde eyokeddwa.

Ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe yalambuludde ebikulu ebituukiddwako mu myaka 29 nga Beene ali ku Namulondo.

Muno mulimu abantu okutegeera ekitiibwa kya Nnamulondo, olulyo olulangira, n’ebyafaayo by’Obwakabaka, n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa Obwakabaka.

Katikkiro agambye nti buli kimu ekituukiddwako kireeteddwa obumu n’okusoosowazibwa kw’abavubuka mu Buganda.

Jjajja Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba yagambye tebagenda kulekerera Ssaabasajja mu kutumbula eby’obulamu nga bayita mukukolera awamu ng’abataka nakakasa nti bakwongera okuzoogerako mu nkiiko nebyoto nga basisinkanye abazzukulu.

Omutaka Mutumba yagambye nti mu kiseera kino ng’abataka, bali ku kawefube w’okulungamya abazzukulu ku nteekateeka zonna ezigobererwa ku mikolo gy’okabya ennyimbe nga bagobererwa obuwangwa n’ennono.

Okusaba kwakulembeddwamu  omulabirizi w’ekkanisa ya Seventh Day Adventist Church Central Uganda Conference, Omusumba Samuel Kajoba eyasabye Omutonzi okuwangaaza Beene.

Omukolo guno gwetabiddwako Nnabagereka,Omumyuka wa Pulezidenti eyawummula Kiwanuka Ssekandi,  Katukiro wa Busoga, Joseph Muvawala, Minisita wa Bunyoro ow’ensonga z’ebweru, Katahoire Phillip,  abalangira n’abambejja, bannalinnya, Ssabalangira , Ssaabaganzi. Bajjajja abataka ab’Obusolya.

Ba Katikkiro abaawummula Owek.Dan Muliika n’Owek J.B Walusimbi , Baminisita ba Kabaka , abaami b’amasaza, n’abakulembeze  b’edddiini ez’enjawulo.

Akulira ekibiina ki NUP,  Robert Kyagulanyi Ssentamu, Gen Mugisha Muntu owa ANT,  akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, Ababaka ba Palamenti ne Bassentebe ba zidisitulikiti ez’enjawulo babaddewo nnyo.

Share this:

Tags: 29th CoronationKabaka Ronald Muwenda Mutebi IIKatikkiro Charles Peter MayigaLubiri Mengo
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.