• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obuganda bulina okwongera okunyweza ennono n’obuwangwa mu bika –  Omutaka Mutumba

Gambuuze by Gambuuze
January 6, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obuganda bulina okwongera okunyweza ennono n’obuwangwa mu bika –  Omutaka Mutumba
0
SHARES
99
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubaga – Kyaddondo

Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka aboobusolya era akulira ekika ky’Ekkobe,  Omutaka Augustine Mutumba Kizito asabye Abaganda yonna gye bali okwongera okunyweza  ennono n’obuwangwa mu  bika eby’enjawulo kubanga eno y’engeri enyangu ey’okuzza Buganda ku ntikko.

Okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okuggalawo empaka  ez’ennono n’obuwangwa mu bazzukulu ba  Walusimbi mwe bavuganyirizza   mu nsonga ezikwata ku lulimi Oluganda n’ensonga ezikwata ku Buganda, empaka zino ziyindidde ku wooteeri Pope Paul wano mu Kampala ku Lwokuna.

Era Namwama asabye bajjajja abakulira ebika ebyenjawulo okutandika ennono ey’okuwandiika bwino akwata ku nsonga z’ebika kiyambeko abanaddawo okumanya akawonvu n’akagga ku nsonga z’ebika n’okukoppa omulembe guno ogwa tekinologiya okutereka ebyafaayo.

Empaka zino abazzukulu bazeetabyemu  nga bayita mu nnyumba ezagunjibwawo mu kika ky’Effumbe.  Wabula ku mulundi guno zibaddemu abantu batono olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona era abasinga bazigoberedde bayita ku mutimbagano.

Gye ziggweeredde ng’ennyumba musanvu okuli;  Ssennoga ne Nannozi , Kaweesa ne Nakaweesa, Kigozi ne Nangonzi  n’abalala be bafunye omukisa okuddamu ebibuuzo wakati mu maaso ga Jjajjaabwe Omutaka  Mbiro Zankya Yusufu Kigumba Makubuya II.

Oluvannyuma lw’okumeggana,  ennyumba eya Ssennoga ne Nannozi  ewangudde empaka zino  n’obugaba 70 era  nesitukira mu kirabo eky’obukadde 4, eddiriddwa  eya Kigozi efunye obubonero 32 n’efuna obukadde 2 so nga waliwo n’ennyumba eya Kimuli egobeddwa mu mpaka oluvannyuma lw’okukozesa omuzzukulu abadde atali wa Ffumbe.

Omukolo guno gwetabiddwako n’omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo, Agnes Nakibirige Ssempa ne jjajja akulira ekika Ky’Engeye, Omutaka Shiba Kasujja Kyesimba owoomunaana.

Bo abazzukulu abeetabye mu mpaka zino bagambye zibayambye okwongera ku bukugu naddala mu nsonga zonna eza Buganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist