Bya Betty Namawanda
Kalungu-Buddu
Abakkiriza wamu n’abantu ab’enjawulo beeyiye e Bukalakasa mu Kalungu olunaku lw’eggulo okuziika Fr. Joseph Tamale, 29 eyafudde wiiki ewedde ekirwadde kya Puleesa n’ensigo.
Omukolo gw’okuziika gwatandise n’ekitambiro ky’emmisa ekyakulembeddwamu Omusumba w’essaza lya Eklezia ery’e Masaka, Serverus Jjumba. Omusumba Jjumba yasinzidde wano n’agamba nti okufa kwa Fr. Tamale kutadde EKlezia mu muyaga, bw’atyo n’asaba abakrisitu okwongera okwewonga eri omutonzi abataase ku ndwadde ez’enjawulo.
Mu ngeri y’emu yennyamidde olw’ekizibu ekiri mu Bannayuganda ng’abantu tebakyesiga bannaabwe nga buli omu aba mu kweraliikirira munne era nga kye kivuddeko n’abantu okubuusabuusa eddagala erigema Corona.
“Kati abantu batuuse n’okulowooza nti buli muntu alwala abeera aweereddwa butwa. Nsaba kino kive mu mitima gy’abantu nti kubanga bwe banaagenda n’embeera eno mu maaso, obunkenke bwakweyongera,” Omusumba Jjumba bwe yategeezeza. Mu bubaka bwe bwe yatisse Ppookino Jude Muleke, Katikkiro Charles Peter Mayiga yatenderezza nnyo emirimu egikoleddwa omugenzi kubanga abadde Father ayagala ennyo Obwakabaka n’eddini ye.
Owek. Mayiga yagambye nti Fr. Tamale akoze kinene nnyo mu kutumbula olulimi Oluganda ng’ayita mu kuyimba n’okukumaakuma abavubuka kyasabye abantu abalala bakitwale nga kikulu.
Ye Omubaka wa Kalungu West, Joseph Gonzaga Ssewungu, yeekokkodde embeera y’ebyobulamu eri mu ggwanga tematiza era nga bangi bafa bagezaako kutwalibwa bweru.
Ye Bwannamukulu w’ekigo ky’e Villa Maria mu disitulikiti y’e Kalungu, Omugenzi Fr Joseph Tamale, gy’amaze omwaka gumu ng’aweereza, Fr Michael Ssewakiryanga, yayunguse amaziga n’ategeezezza nti Fr. Tamale ekirwadde ky’ensigo kye kyamusse nti kyokka yagenze okukibategeezaako ng’obudde buyise.
Fr. Joseph Tamale yafuna Obwafaaza mu mwaka gwa 2012 ng’abadde abumazeemu emyaka 9 era abadde ayimba ennyimba z’eddiini n’okutendeka abayimbi.