• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obugagga Bwa Uganda Bwekwese Mu Nnimi

Gambuuze by Gambuuze
October 19, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obugagga Bwa Uganda Bwekwese Mu Nnimi
0
SHARES
50
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulenga

Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu ngeri ez’enjawulo buzze bukubiriza abantu ba Ssaabasajja Kabaka okusoosowaza olulimi Oluganda n’ennimi endala ennansi mu bitundu bya Uganda ebirala olwo abantu bongere okuteegera ebibakwatako n’okumanya obugagga obw’ensibo obuli mu kuyiga olulimi lwo.

Mu mbeera eno, Mw. Kalemba John asitukiddemu okunnyikiza omulanga guno bw’atandiseewo essomero ‘Das Berliner Language Centre’ nga lino lisangibwa Bulenga era ligguddwawo olwaleero nga 19 Mukulukusabitungotungo 2024.

Ku lw’Obwakabaka, Minisita Israel Kazibwe Kitooke ow’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka yetabye ku mukolo gw’okuggalawo essomero lino, era asinzidde wano n’ayongera okukubiriza abantu okuyiga ennimi ennansi kiyambeko okutumbula enkulaakulana mu Nsi yattu Uganda. Ono ajuliza Ensi ezifuuse ez’amaanyi olw’okuyigiriza abantu baazo ennimi zaabwe, ekibanguyiza okuwuliziganya n’okutambuza emirimu.

Ensi nga Japan, Germany, China, India n’endala mu myaka ssi mingi egiyise ziyitimuse mu byenfuna olwa bannansi okwanguyirwa okutegeera ebibakwatako nga bayita mu kuwuliziganya obulungi olwo ne batandikawo amakolero amanene agakola ebintu ebiri ku mutindo gw’Ensi yonna omuli; emmotoka, essimu, eby’obujjajabi eby’enjawulo, ebyuma bikalimagezi, n’ebirala. Embeera eno ne Uganda gy’esaanye okutunuuliza enkaliriza.

Rev. Fr. Joseph Mpagi, Minisita Kazibwe Kitooke wamu ne Minisita Judith Nabakooba be bagguddewo essomero lino mu butongole era Fr. Joseph akulembeddemu n’emmisa ku mukolo guno, mw’asabidde ekisa kya Katonda okukka ku mulimu guno ogutandikiddwawo gubeere gwa bibala, era yebazizza omutandisi w’essomero olw’obuyiiya ate n’okwagala Ensi ye, ng’ayita mu kutumbula ennimi n’okuwa abantu emirimu.

Omutandisi w’essomero lino Mw. Kalemba John yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ne Katikkiro Mayiga olw’okukubirizanga abantu entakera okwagala ennimi zaabwe n’okuzaagazisa abalala. Ono agamba nti bingi ebikwekeddwa mu nnimi era omuntu bw’awaayo obudde okuyiga olulimi lwe obulungi olwo n’agattako n’endala kimuyamba okugaziya emikisa gye mu bintu bingi naddala emirimu.

Essomero lino ligenda kusinga kusomesa ennimi eza wano okuli; Oluganda, Okusoga, Olunyakitara, Olunyakole n’eze bunaayira nga; Olungereza, Oluwalabbu, Olufaransa, Olukyayina, Olugirimaani n’endala. Okusinziira kw’Akulira eby’ensoma ku ssomero lino Mw. Mutumba Jovan abantu bangi balina obwagazi okuyiga ennimi ez’enjawulo era ategeezeza nti mu kiseera nga tebannaggulawo mu butongole basobodde okuyingiza abayizi 126, ekyongera okulaga obwagazi bw’abantu.

Ono akoowodde abantu abalala okubeegattako okusobola okwongera okutumbula ennimi naddala ennansi eza wano mu Uganda.

Bisakiddwa Samuel Stuart Jingo

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.