Bya Gerald Mulindwa
Kireka
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga ategeezezza nti obufumbo tebusaanamu kuvumbeera na kwekokota bwe bubeera nga bwakuwangaala era singa ne bannannyini bwo baba baagala okubunyumirwa.
Entanda eno Kamalabyonna Mayiga agiweeredde Kireka ku kkanisa y’Abadiventi bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okugatta Munnamawulire Semei Wessaali owa Bukedde ne Agnes Nambi olwaleero.
“Naawe nnyabo omusajja ono mubuulire by’otayagala awatali kwekomomma, obufumbo bwagala ebintu ne bimubyogera butereevu nga bwebiri, bujja kubawoomera.” Mayiga bw’agambye
Mayiga agambye nti nga Buganda bakkiriza nti okudda ku ntikko kyetaaga abantu abalamu n’amaka agateredde obulungi era ng’ensonga eno abantu tebalina kugisaagiramu era ng’abantu bonna mu Buganda bandifubye okufuna obufumbo obutukuvu.
Ono asabye abantu okumanya nti obufumbo bulimu ebirungi wadde abantu abasinga bakulembeza ebibi n’okusoomoozebwa okubulimu. Era abasabye baleme kutya bizibu era n’abaako n’ekirabo kye yabawadde.
Bw’abadde abagatta, Omusumba Samuel Kajoba asabye abagole okukulembeza Katonda mu bye bakola era bamwekwateko kibayambe okuwangaaza obufumbo bwabwe.
Omukolo gwetabiddwako abantu bangi omuli n’akulira olupapula lwa Bukedde, Mw. Geoffrey Kkulubya n’abalala.