Bya Francis Ndugwa
Kitovu – Buddu
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase asabye abafumbiriganwa okwesonyiwa okutimba buli kye bafuna ku mutimbagano kuba guliko abantu abalina amaaso amabi, abataagaliza n’abensalwa.
Obubaka buno Owek. Kaawaase abuweeredde mu Lutikko e Kitovu bw’abadde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’ okugatta omuweereza wa BBS Terefayina, Micheal Birimuye Matovu ne munne Vivian Nabacwa.
Owek. Kaawaase ategeezezza nti obufumbo bubeera bwa bantu babiri nga tekikola makula kutimba buli kimu kye babeera batuuseeko oba okufuna kuba ssi buli muntu nti asanyukira ekirungi omulala kyafunye.
Ayozaayozezza abagole bombi olw’okutuuka ku lunaku luno nakakasa nti ekikolwa ky’obufumbo kya ddiini, buwangwa era kya nnono, n’olwekyo kijja n’ekitiibwa eri akikola, annyonnyodde nti okunyweza Obuganda omwami awasa mukyala sso ssi mwami ku mwami oba mukyala ku mukyala bwatyo yebaaziza bano okunyweza kino.
Omwami wa Kabaka ow’e Buddu, Ppookino Jude Muleke abagole nga yaajulidde abagole abayozaayozezza olw’ okutuuka ku kkula lino era neyeeyama okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno, ategezezza nti amaka kkula ate ssomero eri ababa bafumbiddwa ate n’eri abaana abzaalibwa n’okukuzibwa mu maka. Bwatyo asabye abafumbo bano okutwala kye bayingidde nga nsonga nkulu nnyo.
Omukolo gw’okugatta Abaagalana bano gukoleddwa Bwanamukulu w’ekigo kye Butende Rev. Fr Timothy Ssemwogerere nga ayambibwako baffaaza abalala. Bw’abadde agatta abagole bano, Rev. Fr Timothy Ssemwogerere abasabye okuteeka okwagala wakati wabwe era bakimanye nti obufumbo bubaamu ebisomooza naye bakole okubivvuunuka olwo babeere abazira era abawanguzi.
Fr. Ssemwogerere era atabukidde bannabyabufuzi abavumaŋŋana olw’okwawukana endowooza n’abasaba okukitegeera nti ennono ya demokulaasiya ebeeramu okwegiikiriza.Ono agasseeko nti ensangi zino abantu tebakyayagala kuzaaala wamu n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga abafumbo n’asaba Birimuye ne Nabacwa okuteekawo enjawulo ku kino.
Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka Asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase, Omukubiriza w’ olukiiko lw ‘Abataka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Nsamba, Minisita Cotilda Kikomeko, Omukungu Freeman Kiyimba, Omuk. Patrick Ssembajjo, Ppookino Jude Muleke, Kaggo Hajj. Ahmed Matovu Magandaazi, Hon. Medard Ssegona n’abakungu abalala.
Oluvannyuma lw’okugattibwa abagole basembezza abagenyi baabwe mu maka gaabwe e Nattita mu Disitulikiti ye Kalungu.