Bya Gerald Mulindwa
Kireka
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abafumbo bulijjo okumanya nti obufumbo tebuwangaala lwa kwagala oba obugumiikiriza naye n’obusobozi bw’abaagalana okuvvuunuka ebisoomooza bye babusangamu.
Mayiga ategeezezza nga buli omu mu bulamu bw’ensi eno bw’afuna ebizibu mu ngeri ye naye ng’ekisinga kwe kunoonyeza n’okusalira amagezi aganaabayamba okubawanguza ebizibu bino.
“Obufumbo tebuwangaala lwa Kwagala kwokka n’ebyo ebiri mu kkowe ery’okuba abagumiikiriza naye buwangaala lwakuba musobola okuvvuunuka ebisoomoozo bye mu busangamu.” Mayiga bwe yannyonnyodde.
Mayiga yabalabudde nga bwe bajja okusanga ebizibu ebiwerako wabula n’abawa amagezi bulijjo okunoonya olaba engeri gye bava mu bisoomoozo bino.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde Kireka ku St. Mary’s Centenary Catholic Church e Kireka mu kugatta Stephen Mayanja ne Teddy Namulema.
Namulema muwala w’eyali omubaka wa Lubaga South mu Palamenti, John Ken Lukyamuzi.
Katikkiro ategeezezza nti n’omulimu gw’okuzza Buganda ku ntikko nagwo gulimu ebizibu era ng’obuwanguzi buli mu kuvvuunuka bizibu bino kubanga n’ensi nga America ne China ensi endala ze zeegomba nazo zirina ebizibu.
Ono yasabye abagole bulijjo obutakuliriza bizibu bino wabula beeweeyo okubigonjoola kubanga kino kyakubeerawo lubeerera.
“Ogenda kwetegeka ng’obudde buzibye bukusange n’ekibiriiti oba ogenda kukuliriza nzikiza ng’obudde buzibye.” Mayiga bw’asibiridde abagole bano entanda.
Eyali omubaka John Ken Lukyamuzi atenderezza obukozi bwa Katikkiro Mayiga era n’amwebaza olw’okusalawo ne yeetaba ku mukolo gwa muwala we era n’amusiima olw’okukuuma enkolagana yaabwe.
Akulembeddemu misa ey’okugatta abagole bano, Ffaaza Mathias Kalemba Mulumba, yeebazizza abagole olw’okusalawo okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.
Mulumba asabye abagole okukulembeza Katonda bwe baba baagala okwenyumiriza mu bufumbo bwabwe.