• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obufumbo kwetongola: Obufumbo buvunanyizibwa- Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
December 31, 2025
in Amawulire
0 0
0
Obufumbo kwetongola: Obufumbo buvunanyizibwa- Mayiga
0
SHARES
277
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Kibuli – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abafumbo buli omu okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe awatali kwekwasa nsonga yonna kibayambe okwewala obutakkanya olwo n’obufumbo bubanyumire.

Katikkiro obubaka buno abuweeredde mu muzikiti e Kibuli bw’abadde yetabye ku mukolo gwa Nikkah ya Manisurah Nakazinga Nambi Kaawaase ne Khalil Wavamunno Mugenyi nga bano batandise olugendo lw’obufumbo bwabwe leero.

“Okuwasa oba okufumbirwa ky’ekimu ku bintu ebiraga nti omuntu asajjakudde oba akaziwadde, kubanga obufumbo bujja n’obuvunanyizibwa obw’enjawulo era ky’ekiseera abazadde ku njuyi zombi we bateera abaana baabwe okutandika okwetakulira beesalirewo, wewaawo balina okubawabula n’okubalungamya” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga ayagalizza abagole bano obufumbo obulungi n’abakuutira buli omu okufuba okulaba nga munne Ali mu ssanyu era nga bawaŋŋana ekitiibwa. Bw’atyo yebazizza abazadde okuli azaala omuwala; Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng’ono ye Mumyuka Asooka owa Katikkiro, wamu n’azaala omulenzi Elvis Wavamunno wamu ne ba Maama olw’okutegeka obulungi abaana baabwe okutuusa ne leero lwe babakkiriza okutandika okwetakulira.

Ye Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Taata w’omugole omukyala, asibiridde ababiri bano entanda ya kuwuliziganya ebbanga lyonna, kibayambe okuwangaaza obufumbo bwabwe.

Sheikh Abdul-Salaamu Mutyaba y’akulembeddemu omukolo gw’okusiba abagole Nikkah, ono abakuutidde buli omu okujjukizanga nga munne, n’okwekwata ennyo ku swalah amaka basobole okutebenkera.

Omukolo gwa Nikkah gino ogubadde mu muzikiti e Kibuli gwetabiddwako Abaami ba Kabaka mu Kabineeti, Abamasaza, Bassenkulu b’ebitongole, Abakungu ab’enjawulo n’abooluganda n’emikwano abawereddeko ddala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist