• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obufumbo Kuyitibwa Okuva Ewa Katonda – Katikkiro Mayiga.

Gambuuze by Gambuuze
April 28, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obufumbo Kuyitibwa Okuva Ewa Katonda – Katikkiro Mayiga.
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Lubaga, Kyaddondo

Fred Nyanzi Ssentamu agatiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Mukyala we Marjorine Namukisa mu Ekkeleziya e Lubaga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lw’Obwakabaka aweereza ababiri bano era busomeddwa Oweek. Noah Kiyimba. Mu bubaka bwe, Mayiga ayozaayozeza abaagalana bano olw’okufuna obufumbo obutukuvu era abeebaziza olw’okusalawo okukuumagana obulamu bwabwe bwonna.

“Obufumbo kuyitibwa okuva eri Katonda, era musaana mukuume ekitiibwa ekyo, abalala basobole okubalabirako olw’ekifaananyi n’enneeyisa ebigya mu kitiibwa ekyo” – Mayiga. Asabye Nyanzi okukozesa eddagala lyatuseeko ery’obufumbo okuyambako okwongera okuweereza mu bwesimbu n’asaba ne Marjorine okumanya nti mu mukwano mwetagamu obugumiikiriza n’okwerekereza.

Oweek. Noah Kiyimba Minisita wa Kabineeti Olukiiko Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro ku lulwe asabye ababiri bano okwewala okusalawo amangu mu biseera eby’okusoomozebwa era abakubirizza buli omu okwagaliza munne ekusinga obulungi olwo basobole okuwangaaza obufumbo bwabwe.

Omulangira David Kintu Wasajja ategeezeza nti obufumbo obutukuvu bujja n’emikisa gya Katonda, bwatyo n’asaba ababiri bano okumunywererako ate n’abaana baabwe babakulize ku musingi gw’Ekkeleziya, babayigirize Obuwangwa n’Ennono bafuuke ab’omugaso eri Ensi nga ne Famire ya ba Ssentamu bwemanyiddwa okuba ey’amaanyi mu Ggwanga.

Omulangira era yeebaziza nnyo Nyanzi olw’obukulembeze bwe, era ategeezeza nti yamumanya lwa bukulembeze, kyokka agambye nti “Abantu abasinze okunafuya Ensi yaffe, be bo abatalina mugongo”. Wano wasinzidde n’alaga obwetaavu obwokwongera okuzimba obumu mu bavubuka okulaba nga boogeza eddoboozi ery’omwanguka.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere aggasse Fred ne Marjorine, abasibiridde entanda ye kwekwata nnyo ku Ssaala, okubeera abeetowaze, okukozesa Katonda by’abagabiridde okugasa amaka gaabwe ate n’okugezaako okubeera abatuukirivu buli kiseera. Asabye ababiri bano okuwa amaka obudde, beewale okutwalibwa emirimu kibayambe okuwangaaza obufumbo.

Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu ku lw’ebenju ya Ssentamu yeebaziza nnyo mukulu waabwe Nyanzi olw’okusalawo okugattibwa mu ekkeleziya bonna ab’enju mwebazze bagattirwa, era ategeezeza nti ekya Fred ne Marjorine okufumbiriganwa kabonero eri abaana baabwe okuwasangana mu kitiibwa ate mu butongole. Kyagulanyi asabidde mukulu we omukisa gwa Katonda n’okuganjaneri abantu.

Mmisa ebadde mu ekkeleziya e Lubaga yeetabiddwamu Omulangira David Kintu Wasajja, Oweek. Joseph Mulwanyamuli Ssemogerere, Katikkiro eyawummula, Omutaka Kasujja ow’Ekika ky’Engeye n’Omuyaka Muteesaasira ow’Ekika ky’Engo Abakulu Ab’obusolya, Bannaddiini abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo n’abantu abalala. Bano oluvannyuma bagenze ku Freedom City gyebagabulidde abagenyi baabwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.