Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde abantu abeesimbyewo ku lwabwe (Independents) okwewala ababasaba ssente nga babasuubiza okubawa obubonero bwe banaakozesa ku bukonge mu kalulu ka bonna aka 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Bukenya.png)
Omwogezi w’akakiiko kano Paul Bukenya yagambye nti obubonero buno akakiiko kabugaba ku bwereere ng’omuntu asooka okubatuukirira gwe basooka okuwa akabonero k’ayagala.
“Obubonero tetubutunda era asooka okujja y’alondawo akabonero k’abeera ayagala.” Bukenya bwe yagambye.
Okwogera bino Bukenya yabadde mu woofiisi ye mu Kampala n’ategeeza nti omuwendo gw’obubonero buno gwongeddwako okuva ku bubonero 10 nga kati bufuuse 20, kisobozese abeesimbyewo okweroboza.
Bukenya yakubirizza abantu abatalina bibiina kwe bajjidde okutuukirira akakiiko kasobole okuweebwa obubonero buno obulina okuteekebwa ku kakonge.
Obubonero obupya obuleeteddwa mulimu; essimu, ttivvi, omuti, ennyumba, ekiwagu ky’amatooke, emmotoka, omuzindaalo wamu n’ekidomola.
Ate obukadde kubaddeko; eggaali, ensuwa, essaawa, entebe, ssefuliya, emmeeza, ekikopo, leediyo, ebbinika wamu n’omupiira.
Obubonero buno obupya bwakugattibwa ku bw’ebibiina ebyenjawulo okuli; bbaasi ekozesebwa aba NRM, Manvuuli ekozesebwa aba NUP, enkumbi eya DP, minzaani eya JEEMA n’ekisumuluzo kya FDC, ate ng’ekibatu kya UPC wamu n’obubonero bw’ebibiina ebirala.
Bukenya yalabudde abeesimbyewo ku bwannamunigina okwewala okukozesa obubonero obutali mu obo bukkiriziddwa kakiiko kubanga kijja kutataaganya abawagizi baabwe.
Okusinziira ku mwogezi w’akakiiko kano Paul Bukenya, abeesimbyewo tebalina kuferebwa kubanga obubonero buno bwa bwereere.