Bya Noah Kintu
Kampala
Abatuuze mu disitulikiti y’e Ssembabule mu ggombolola ye Lugusuulu bali mu kasattiro olw’obubbi bw’ebisolo obukudde ejjembe mu kitundu kino ekiwalirizza n’amagye okuyingira mu nsonga eno. Wakati mu kusoberwa, abatuuze batuuzizza olukiiko olwetabiddwamu ne bannammagye olunaku lw’eggulo okusalira ekizibu kino amagezi era gye byaggweeredde ng’abamu n’amaziga gabayiseemu.
Abatuuze okuli; Bills Magondo, Tumuhairwe Edward n’abalala, bagamba nti ente zaabwe ababbi bazisala ne baziteeka mu matundubaali olwo ennyama ne bagipakira mu bbuutu z’emmotoka za Busoga ne bagitwala.
Bills Magondo yannyonnyodde nti, “Waliwo ebikwekweto poliisi by’ekola mu kitundu kw’ossa n’okusuula emisanvu ku nguudo ez’enjawulo, naye tewali wadde omuntu omu gwe yali ekutte ku nsonga eno.”
Abatuuze balumiriza omuwaabi wa gavumenti n’Omulamuzi okuyimbula ababeera bakwatiddwa, ekintu kye bagamba nti kiva ku nguzi ebaweebwa.
Bagasseeko nti wadde ebisolo byabwe bibbibwa mu kiro era nga bateebereza abaana enzaalwa okwenyigira mu kikolwa era nga waliwo be bateebereza be bawadde poliisi naye tewali kyamaanyi kituukiddwako.
Wabula ye akolanga omuduumizi wa poliisi mu kitundu kino, Abdul Nasa Hiduja, yasuubizza abatuuze nti baakukola kyonna ekisoboka okumalawo obubbi buno awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Omwogezi w’enkambi y’amagye ey’e Kasijjagirwa, Maj. Flavia Terimulungi, ategeezezza nti bafunye okwemulugunya ku bubbi buno awatali kuyambibwa poliisi era kwe kusalawo okusitukiramu ku nsonga eno.
Terimulungi alabudde abantu bonna abeenyigira mu muze guno kuba baafunye dda n’amannya g’abamu ku bantu abasongeddwamu olunwe era okunoonyereza kwatandise dda.
Ate ye Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti eno, Ramathan Walugembe, alabudde bassentebe b’ebyalo abakozesa obubi sitampu nga baziteeke ku bbaluwa ezitambuza ebintu ebibbe, nti bubakeeredde.
Ono era abalabudde okukomya okwenyigiza mu misango gye batalinaako buyinza n’agamba nti kino kisaana okukoma kuba kye kivuddeko ebikolwa nga bino.