Twegatta ku bantu ba Katonda mwenna okujaguza Amazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristu ag’omwaka 2021. Omwaka oguwedde, tetwasobola kwetaba ffena mu masinzizo, olw’embeera y’obulwadde bwa covid-19, obwasaanyalaza eggwanga lyonna mu bintu ebitali bimu.
Tusaasira bannaffe abalwadde n’abafiiriddwa abantu baabwe olw’obulwadde bwa covid-19. Tubasaba okugondera endagiriro z’abasawo ezituyamba obutakwatibwa bulwadde buno.
Tubakulisa okulonda kw’abakulembeze baffe okubaddewo ku ntandikwa y’omwaka guno. Tusaba Katonda okukkakkanya abo bonna abakyalina obusungu, obuswavu n’obulumi okwekuba mu kifuba era bamanye nti, eddembe lya ssekinnoomu okulonda omuntu gw’oyagadde. Tusaba obwenkanya mu misango gyonna egyekuusa ku by’okulonda okuwedde n’okuteebwa kwabo bonna abali mu makomera nga balangibwa endowooza zaabwe ez’ebyobufuzi.
Amazuukira gatujjukiza okuyiika kw’omusaayi, okubonyaabonyezebwa, okwewaayo n’amaziga ebyavaamu okununula kw’ensi. Kitukakatako naffe okwewaayo bulijjo mu bwesimbu okubonaabonera abalala mu bye tukola. Kyokka twewuunya nnyo okulaba ng’ebikolebwa mu ggwanga lyaffe, naddala ensangi zino, tebyesigamizibwa ku babonaabona olw’abalala. Kitukwasa ennaku okulaba ngabakulembeze bakyalemedde mu bikolwa eby’obunnanfuusi, obwennakyemalira, amaddu, obukuusa, okwekkusa n’okwekuza ku bitali byabwe.
Tubakubiriza obutasaabulula omulamwa gw’okuzuukira ng’abantu bamalibwako eddembe lyabwe.
Tubaagaliza Amazuukira ag’Essanyu n’Emirembe.