Bya Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ye si ndiboota yangoye nti asobola okugulibwa. Okwogera bino Mayiga abadde ayogerera mu Lukiiko lwa Buganda e Mmengo nga ayanukula abo ababadde bamuwalampa naddala ku mitimbagano olw’obukadde 300, pulezidenti Museveni zeyamuwa okuzzawo Amasiro ge Kasubi.
“Waliwo abambuuzizza lwaki nakkiriza obukadde 300 okuva mu gavumenti nebeebuuza nti nno banguze. Mwe bwemundaba ninga endiboota gyebalamuza? Nze ngulwa nze, bangula batya, sigulibwa. Ye abaffe, nze nziikwa mu Masiro?” Mayiga bwagambye. Agaseeko nti ku mulembe gwa Katikkiro John Baptist Walusimbi gavumenti yasuubiza nti Buganda bwenaalaga ensaasanya, y’obuwumbi obubiri bweyali ewaddeyo, yali yakugyongera ensimbi endala, wabula kino ebadde tannakikola. “Abaganda sibebasinga okuvaamu omusolo? Kale webatudiza ku musolo mwe gwemuwa, netukola amasiro ga Bassekabaka kibiiki? Pulezidenti teyakutte mu nsawoye. Sinnagulibwa era sigulwa. Eky’okubiri, bwebanampita okukima sente endala njakugenda nzikimeyo, nkole omulimu Kabaka gweyankwasa,” Mayiga bwategeezezza. Agasseeko nti essente zikyetaagibwa okusobola okuzzaawo amasiro kubanga omulimu gukyaliwo.
Mubirala, Katikkiro yakubirizza abantu okugenda okukebera amannya gabwe ku nkalala z’abalonzi basobole okwenyigira mu kulonda kwa bonna mu 2021. “Okulonda kikulu nnyo kubanga n’asula mu nnyumba erina olujji oluyabayaba naye aluzzaawo. Mbakuutira mugende mufune endaga muntu kubanga mumaaso awo, oyinza okufuna obuzibu ng’ogyetaaga,” Mayiga bwagambye. Mu Lukiiko lwaleero era mubaddemu n’okulayiza abaami bamasaza abaggya. Katikkiro era yakozesezza omukisa guno okubaaniriza saako n’okwebaza abo abawumudde olw’omulimu omulungi gwebakoze. “Emyaka etaano egiyise, bakoze nnyo okukunga abantu okubugiriza Omutanda yonna gyalambudde. Omwaka oguwedde twafuna obukadde 480 mu Luwalo era Baami bano,” Mayiga bwategezezza. Katikkiro era asabye abantu ba Kabaka okwekuuma siriimu n’ategeeza nti bukyali bulwadde bwamutawaana. Ate yye KotiridaNakate omukiise okuva e Busujju, asabye abazadde okuddamu okufunira abaana baabwe obudde okubabuulirira. “Abaana abawala bawuliriza nnyo bakadde baabwe abasajja. Omwana alina okutendekebwa n’amanya nti alina ebigendererwa mumaaso, yeekuuma atya, kabiiki akayinza okuva mukiki. Abazadde tulina okuddamu okwekebera,” Nakate bwategeezezza.
Mu luliiko lwa leero era mwetabiddwamu ababaka okuva mu Bwakabaka bwa Bunyoro okubadde Omukubiriza w’Olukiiko lwa Bunyoro, Ssaabawolereza (Arttoney General) wa Bunyoro ne Minister ow’ensonga z’ebweru (Foreign affairs Minister) okuva mu Bunyoro.
Olukiiko olwaleero era luliko ebiteeso eb’enjawulo lwe biyisiza.