Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kiwakanyizza ebya poliisi okugamba nti baliko okwekalakaasa kwe bategese okuwakanya obukulembeze bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Bino byayogeddwa omwogezi w’ekibiina kino, Joel Ssenyonyi mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya oluvannyuma lw’omwogezi wa poliisi, Fred Enanga okutegeeza nti baagala kutabangula ggwanga nga bayita mu kwekalakaasa.
“Tewali kintu kyonna kye tukola nga kiri wabweru w’amateeka, buli kye tukola kiri mu mateeka, tukiteeka mu lwatu kuba kibeera kiri mu mateeka.” Ssenyonyi bwe yagambye.
Okusinziira ku Ssenyonyi, bino babikoze kulaba nga bongerwa ku ssente z’embalirira wadde nga poliisi egamba nti amawulire gano baagafunye okuva mu nsonda zaabwe ezisinga okwesigika.
“Ffe endowooza yaffe egamba nti abakulu mu poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda obwavu bubaluma era baliko akasente ke baagala kufuna okuva mu gavumenti naye balina okubaako ensonga gye bawaayo okufunirako ssente zino.” Ssenyonyi bwe yagasseeko.
NUP egamba nti baakusigala nga basaba gavumenti eyimbule abawagizi baabwe abakyakuumirwa mu makomera nga n’abamu bakyagenda mu maaso n’okukwatibwa.
“Twategedde nti bano babavunaana kulya mu nsi lukwe awamu n’emisango egyekuusa ku butakkaanya bw’ebyobufuzi. Bannamateeka baffe baatandise dda okugoberera ensonga eno.” Ssenyonyi bwe yannyonnyodde.
Bano baasabidde bannaabwe abaafiiridde mu butabanguko bw’ebyobufuzi ngakyasembyeyo ye Twaha Kigozi eyafudde oluvannyuma lw’okutomerwa emmotoka.
Ssenyonyi agamba nti baakusigala nga bayimiridde wamu ne famire z’abantu bano era basaba Katonda abanyige ebiwundu.