• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

NUP si kibiina kya bakireereese nti kimala gagoberera buli kimu – Owek. Mpuuga

Gambuuze by Gambuuze
October 21, 2021
in Amawulire
0 0
0
NUP si kibiina kya bakireereese nti kimala gagoberera buli kimu – Owek. Mpuuga
0
SHARES
98
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kyengera – Busiro

Amyuka Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) era akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Owek. Mathais Mpuuga Nsamba, ategeezezza nti ekibiina kya NUP si kyabakireereese nti bajja kumala gagoberera buli kimu awatali kusooka kwebuuza na kubikubamu ttooci, kuba balina ebigendererwa n’emiramwa kwe bakitambuliza.

Okwogera bino, Owek. Mpuuga abadde ayogerako bannamawulire ku Lwokuna e Kyengera ku nsonga lwaki ekibiina kya NUP kikyalemeddwa okwegatta ku mukago gwa  IPOD ogutaba ebibiina ebirina ababaka mu Palamenti.

“NUP si kibiina kyabakireereese, tulina olugendo lwe tutambulira era olugendo olwo lulina ebigendererwa. Era buli mutendera gwe tutuukako twebuuza oba nga tutambudde bulungi, tuwenyegera, tubeteggera, tuli kuki, tuba tulina okutambula n’omulamwa. Ensonga ya IPOD tetugirinako buzibu kukolagana na kuwuliziganya kubanga eggwanga si lyaffe, eggwanga lya ffenna?” Owek. Mpuuga bw’agambye.

Owek. Mpuuga annyonnyodde nti wadde  ekirowoozo kya IPOD kyaleetebwa  abagabi b’obuyambi olw’obuzibu bw’okusika omuguwa n’okulyang’ana okwali mu ggwanga,  naye kati yafuna ekizibu kuba waliwo abalowooza nti mukisa okufaananya bannaabwe be bavuganya nabo ng’abatalina makulu nga tewali mwagaanya kuteeka biteesebwako mu nkola.

Omubaka Mpuuga agasseeko nti wadde IPOD yalina obuvunaanyizibwa okulaba ng’okulonda tekubeeramu butabanguko, okulaba ng’ebibiina by’obufuzi bifuna ssente ssaako n’okusomesa abantu awamu n’okulaba ng’akakiiko k’ebyokulonda tekaba  na kyekubiira naye ku bino byonna tewali kyakolebwa.

Ono agamba nti wadde ebibiina by’obufuzi bingi mu ggwanga era buli ludda lulina bwe lwagala eggwanga litambule naye waliwo empagi eziyimirirako eggwanga ezitalina kukyuka awatali ku kufaayo ani alina obuyinza, kuba bino bikkaanyizibwako ng’eggwanga.

Owek. Mpuuga agamba nti okwegatta ku IPOD, baagala abantu abakwatibwa olw’ebyobufuzi basooke bayimbulwe awatali bukwakkulizo

ku mbeera y’ebyokwerinda eri mu ggwanga, Owek. Mpuuga annyonnyodde nti ebiriwo tebiraga butebenkevu era nga waliwo n’abamenyi b’amateeka abatambulira mu by’obufuzi bya Uganda ebyakireebereebe,, n’asaba buli omu afune obuvunaanyizibwa yeekuume era yeekengere.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist