Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakibiina kya National Unity Platform(NUP), bayitiddwa mu lusirika Ssabbiiti ewedde okusalawo ani gwe banaasimbawo oba okuwagira ku Bwasipiika anaakubiriza Palamenti y’e 11.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/nup.jpg)
Kino kibikkuddwa Omubaka John Baptist Nambeshe, omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina avunaanyizibwa ku buvanjuba bw’eggwanga, bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya. “Ssabbiiti ejja tugenda kubeera n’Olusirika era emu ku nsonga ezigenda okuteesebwako lwe Lwokaano lwa Sipiika.
Tukkiriza nti ng’ekibiina tujja kuvaayo n’okusalawo oluvannyuma lw’Olusirika luno era tujja kubategeeza ekinaasalibwawo.” Nambeshe bw’ategeezezza.
Nambeshe agamba nti abantu basuubire ekyewuunyisa ku muntu aba NUP gwe bagenda okusalawo ku Bwasipiika mu kifo okusukka ku ky’abamu okulowooza nti NUP eyinza okuwagira omu ku bali mu lwokaano. Ono ategeezezza nti ekibiina kyabwe tekitundibwa era tekigenda kukozesebwa muntu yenna ayagala okutuukiriza ebintu bye nga Ssekinnoomu. Nambeshe annyonnyodde nti baakuteesa ku nsonga y’abantu baabwe abaawambibwa abakyalemedde mu mikono gy’abeebyokwerinda.
Ate amyuka Pulezidenti mu Buganda, Mathias Mpuuga, agamba nti ng’ekibiina bawaddeyo Ssabbiiti eno Entukuvu si kujjukira Yesu Kristo yekka naye baakusabira abantu baabwe abali mu buwambe mu masomero mu bitundu ebyenjawulo.
“Tusaba bannaddiini okutweyungako tusabire abawagizi baffe wonna webali. Nga tujjukira Yesu Kristo, tujjukire n’abo abatalina musango abali mu makomera n’abo abattiddwa awatali musango.” Mpuuga bw’annyonnyodde.
Bino we bijjidde ng’akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine ng’ali bweru wa ggwanga ku mirimu emitongole.