Bya Musasi Waffe
Kampala
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP), etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti abamu ku bakungu baakyo abatuula ku kakiiko kaakyo ak’ebyokulonda baliko abantu be baggyako ssente nebabasuubiza okubawa kkaadi y’ekibiina.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Joel-Ssenyonyi-1-1.jpg)
Kino kiddiridde abamu ku beesimbyewo mu kamyufu k’ekibiina kino okulumiriza muganda wa Bobi Wine amanyiddwa nga Chairman Nyanzi, okubasaba ssente bwe baba baagala okuweebwa kkaadi.
Bano balumiriza nti bwe baagaana okuzimuwa, kkaadi yaziwa be baali bavuganya nabo mu ngeri etali ya bwenkanya.
Abeesimbyewo abamu balumiriza Nyanzi nga ye mukwanaganya wa banneekolera gyange mu NUP, kkaadi okuziwa mikwano gye.
Kino kye kyawaliriza omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi olunaku lw’eggulo, okuvaayo n’asaba buli muntu alina obujulizi ku Nyanzi ne banne okubuleeta basobole okufuna obwenkanya mu bwangu.
Okusinziira ku Ssenyonyi, okunoonyereza kuno kugendereddwamu okuzuula abantu bennyini abatuufu, Nyanzi bagambibwa okukolagana nabo okusaba abantu bano ssente.
“ Abalina obujulizi mubuleete tusobole okugonjoola ekizibu kino eky’enguzi, twagala okutuuka ku kinyusi kya bino byonna.” Ssenyonyi bwe yasabye.
Wabula bino Nyanzi yabiwakanyizza n’ategeeza nti tafunangako ssente kuva ku muntu yenna era bino bigendereddwamu kwonoona linnya lye.
Nyanzi agamba nti lino kkobaane okuva mu bibiina ebimu okugezaaako okuvumaganya ekibiina kyabwe ekya National Unity Platform.
Bino we bijjidde ng’ekibiina nga NUP yaakamala okufulumya olukalala lw’abo abagenda okwesimbawo ku bwammeeya ne bassentebe ba Disitulikiti.
Ssenyonyi era mu bano yasabye abataamatidde nakusalawo kwa kibiina, bateekemu okwemulugunya kwabwe.
Akulira ekibiina kino, Robert Kyagulanyi yavaayo n’alabula nga bw’atagenda kuttira ku muntu yenna ku liiso singa anaasangibwa ng’aliko omuntu gw’asaba ssente okumuwa kkaadi kubanga kino kigenda kwonoona erinnya ly’ekibiina kino.