Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Joel Ssenyonyi alabudde ababaka b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) okwewala okuggyawo eddembe ly’okweyimirira kuba akadde konna nabo basobola okukwatibwa.
“Aba NRM balina okumanya nti Pulezidenti Museveni mu kaseera kano ye yekka atasobola kukwatibwa. Abalala bonna basobola okusibibwa noolwekyo balina okwegendereza.” Ssenyonyi bw’agambye.
Ono awadde ekyokulabirako ky’ababaka Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North, ababadde basaba okweyimirirwa kyokka kkooti n’egaana nga kino kisobola okutuuka ku mulala yenna.
Ssenyonyi agamba nti bino tebirina kubaako kibiina oba ludda wabula okutaasa eddembe ly’obuntu kuba singa etteeka lino likyuka, embeera eno tetunuulira bibiina oba ddiini.
Omwezi oguwedde, Kabineeti yakkiriza ekiteeso okukola ennongoosereza mu nnyingo 23 (b) eya Ssemateeka egamba nti omuntu yenna azza omusango oguwulirwa kkooti enkulu ne kkooti eziri wansi waayo, taafunenga kweyimirirwa okutuusa ng’awezezza ennaku 180 oba ng’omusango gutandise okuwulirwa oba nga Ssaabawaabi wa gavumenti amuggyeeko emisango.
Ekiteeso kino kyajjawo oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okusaba Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka okulambika Kabineeti ku ngeri gye basobola okukola ennongoosereza zino.
Pulezidenti Museveni agamba nti eby’okweyimirirwa bibeera byakusosonkereza era biyingirira okunoonyereza nga noolwekyo etteeka lino lirina okukyuka.