Bya Musasi Waffe
Bannakibiina kya Democratic Party (DP) mu kibuga ky’e Ntebe bali mu kutya nga balowooza nti ekibiina kyandisaanyizibwawo olw’amaanyi aba National Unity Platform (NUP) ge baleese.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/HHH.png)
DP kye kimu ku bibiina ebisinga amaanyi mu kitundu ky’e Ntebe nga kino kiddirirwa ekibiina kya National Resistance Movement (NRM).
Bannakibiina bagamba nti ku mulundi guno, ekibiina kya NUP kisimbyewo abantu abawera 48 ku mitendera egy’enjawulo, naye nga ku bano kuliko abaali mu kibiina kya DP ne bakivaamu.
Omu ku bawagizi ba DP kayingo mu kitundu kino, Maria Assumpta Nakamya, agamba nti omuwendo gw’abeesimbyewo ku kkaadi ya NUP abangi, gubeerariikiriza.
“Omuntu yenna ava mu kibiina si nsonga alina ekifo mu kibiina, kikosa amaanyi ga DP. Kakembo bwe yali ava mu DP yavaamu n’abantu abawerako, Kayidali abadde mukunzi mulungi e Kigungu. Kati DP erina okuvuganya n’abagivuddemu ate evuganye n’ebibiina ebirala nga NRM.” Nakamya bw’agambye.
Wabula Ssentebe wa DP, e Ntebe, Francis Makumbi, ategeezezza nti abaava mu DP okugenda mu NUP bwe guba mupiira baali batuula ku katebe era n’agattako nti ekibiina kisimbyewo abantu abalina embavu okuwangula ebifo ebiwerako.
Mmeeya w’ekibuga Ntebe, Paul Kayanja, ategeezezza nti amaanyi ga NUP gali ku bifo ebyawaggulu naye wansi mu byalo teriiyo.
Akulira ekibiina kya NUP e Ntebe, Staurt Lubwama, ategeezezza nti NUP tewali kibiina ky’eyagala kuggyawo mu kitundu kino, naye bakola kimu kyakunyweza bantu baagala nkyukakyuka.
“Tegubeera musango omuntu yenna bw’avaayo okwegatta ku NUP, naffe tubaddewo nga tuwagira FDC ne DP kati ke kaseera, tunyweze obululu bwaffe mu kibiina ekimu nga ye NUP.” Lubwama bw’annyonnyodde.
Atwala ekibiina kya Alliance for National Transformationa (ANT) agambye nti NUP okufaananako ANT bagguddewo enzigi eri abantu abalala abaagala okwetaba mu by’obufuzi.
Ye Stephen Kabuye, ssentebe wa NRM e Ntebe agumizza bannakibiina kye nti bano bonna bagenda kubawangula mu bifo ebisinga.
URN