Bya Ssemakula John
Kampala
Abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Nubian Li balaze ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu ennaku gye balabidde e Kitalya etuusizza ne bannaabwe e Magombe okusimbayo ekitooke.
Ababaka ku kakiiko kano baabadde bagenze mu kkomera lino okulaba embeera abasibe abakumirwayo gye balimu. Abawagizi ba Bobi Wine (Robert Kyagulanyi) nga baakuliddwamu Buken Ali aka Nubian Li yagambye nti embeera bannaabwe mwe bali eyungula ezziga.
Ku lwa banne abakuumirwa mu kkomera lino , Nubian Li yagambye nti bagaanibwa okweyimirirwa era bwatyo n’awa ababaka bano ekiwandiiko kya miko 4 nga kittottola ennaku gye balimu.
“Abamu ku bannaffe baayimbulwa kyokka ne baddamu ne bakwatibwa naye kati okumala emyezi 3 tebafunanga mukisa kulaba bannamateeka baabwe ate ng’abamu balwadde nnyo.” Nubian Li bwe yagasseeko.
Ababaka bano bawayizzaamu ne Sharif Onager ow’emyaka 35 omuyambi wa Kyagulanyi ng’ono baamusanze ali mu bulumi era ng’ateereddwako eccupa.
“ Bw’otunuulira ebifaananyi bya X-ray, kiraga nnina eggumba eryamenyeka mu kifuba naye abakulira ekkomera bang’aana okufuna okujjanjabi nga bakola kimu kyakumpa mpeke ziweweza ku bulumi.” Onager bwe yagambye ababaka bano.
Ate ye Charles Mpanga ow’emyaka 25 ng’ono y’omu ku baali baddukanya omutimbagano gwa NUP, yannyonnyodde nti ebimu ku bintu bye bitandise okunafuwa kuba alemeddwa okufuna obujjanjabi obulungi.
“Kirabika nnina ekizibu ku nsigo, abajaasi bankuba bubi nnyo nga baatukwata e Kalangala, sisobola kufuka n’ebitundu ebirala nabyo binnuma nnyo.” Mpanga bwe yannyonnyodde mu bulumi.
Ye Geoffrey Butalya, 27,nga naye muwagizi wa NUP agamba nti obulumi bumutta mu kifuba.
“Bankuba bubi nnyo era ndowooza nafuna ekikyamu mu kifuba kuba abasajja bankuba bubi nnyo bwebaali batukwata e Kalangala naye sifunanga ku bujjanjabi bwonna.” Butalya bwe yategeezezza.
Ssentebe w’akakiiko kano, Agnes Taaka, yalaze okutya olw’emmere eweebwa abasibe bano obutabeera ku mutindo ng’ono yawaliriziddwa okulya ku bijjanjaalo wabula nga byonna bijjuddemu amayinja.
Ku nsonga eno omu bakulira eby’emmere mu kkomera lino, David Nsalasatta, yasuubizza okwongera ku mutindo naye n’alaga nti kino kiva ku nsimbi entono ezibaweebwa okuddukanya ekkomera lino.
Ekkomera lino erya Kitalya Maximum Prison lipya era lyaggulwawo emyaka mitono emabega era okusinziira ku biwandiiko, lisobola okukuumirwamu abasibe abawerera ddala 2,379.