Bya Ssemakula John
Kampala
Abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okuli; Ali Bukeni amanyiddwa nga Nubian Li, Eddy Ssebufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe, Daniel Brenny Oyerwot ayitibwa Dan Magic wamu n’abalala 15, bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti y’amagye.
Bano bayimbuddwa Ku Mmande, ssentebe wa kkooti eno Andrew Gutti okuva mu kkomera e Kitalya gye bamaze emyezi omukaaga ku alimanda. Kinajjukirwa nti bano baakwatibwa mu Desemba w’omwaka oguwedde bwe baali bawerekedde ku Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine bwe yali anoonya akalulu e Kalangala.
“Mpulidde bannamateeka b’enjuuyi zombi, kkooti eno esazeewo nti abakwate bamaze ebbanga ddene ku alimanda era kkooti eno esazeewo okuyimbula abantu bano ku bukwakkulizo,” Omulamuzi Gutti bw’agambye.
Obumu ku bukwakkulizo obuteereddwako kuliko obutasukka Wakiso ne Kampala awatali lukkusa lwa kkooti, Okweyanjula emirundi ebiri buli mwezi, buli omu asabiddwa akakalu ka kkooti ka bukadde 20 ezitali zaabuliwo ate ababeeyimiridde obukadde 50 ezitali zaabuliwo.
Ssentebe wa kkooti eno Gutti alabudde Nubian Li ne banne okwewala okumenya akakwakkulizo konna kuba bwekizuuka bajja kuddamu bakwatibwe.
“Nubian Li, Eddie Mutwe, Dan Magic n’abalala abaakwatibwa e Kalangala bayimbuddwa. Wadde kituwadde obuweerero naye tukyalina okubanja bayimbule abantu bonna abaakwatibwa mu bitundu ebyenjawulo mu ggwanga.” Omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi bw’annyonnyodde.
Abayimbuddwa be bamu ku bawagizi ba Bobi Wine 49 abaakwatibwa e Kalangala nga Desemba 30, 2020 ne basimbibwa mu kkooti e Masaka mu January 2021 gye baayimbulwa kyokka oluvannyuma ne baddamu okukwatibwa era ne basimbibwa mu kkooti y’amagye eyabasindika e Kitalya.
Bano bazze basaba okweyimirirwa nga gavumenti egamba nti bano basobola okutandika obwegugungo.
Oludda oluwaabi lulumiriza abakwate okusangibwa n’ebyokulwanyisa ekimenya amateeka wadde nga bo emisango bajegaana.