Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) kiyungudde bannamateeka abaweze 40 battunke n’aba National Unity Platform (NUP) abawera 25 mu musango gwe baatadde mu kkooti nga baagala esazeemu obuwanguzi bwa Pulezidenti Yoweri Museveni era okulonda kuddibwemu.

Ku Mmande, Pulezidenti w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, yaddukidde mu kkooti ensukkulumu n’agisaba esazeemu okulondebwa kwa Pulezidenti Museveni era nga yawaddeyo ensonga 26 omuli; okubba akalulu, okutiisatiisa bagenti be, abawagizi be wamu n’obululu obwasangibwa nga bugolole mu bubookisi.
Bannamateeka abayunguddwa bakulembeddwa akulira ebyamateeka mu kibiina kya Oscar Kihika.
Bano bwe babadde beegeyaamu ku ngeri gye beetegeseemu ku lunaku lw’okuwulira omusango guno, bagambye nti amateeka gali ku ludda lwabwe.
Kihika ategeezezza nti asaasidde oludda oluwaabi kuba ku bujulizi bwe baakug’aanyizza balinako ebitundu 20 ku buli 100 ebirimu eggumba ng’ebisigadde beesigamye ku lugambo era nga beetegese okutaasa obuwanguzi bwabwe.
“Kibeera kya bulalu obuteetegeka. Olina okwetegeka nga bukyali singa emisango giwaabibwa ne gikusanga nga weetegese ekimala. Nsaasidde abawaabi kuba obujulizi bwe balina ebitundu 20% byokka bye birimu ensonga ebirala Wolokoso. Kihika bwe yannyonnyodde.
Omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi, ategeezezza nti yafunye ebiragiro ebibayita okwewozaako naye n’agattako nti ensonga za kkooti zeesigama ku bujulizi omuwaabi bw’alina.