Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya National Resistance Movement kiwangudde ebifo by’ababaka ba bavubuka mu Palamenti ebisinga obungi mu ggwanga mu kulonda kw’eggulo. Wano mu Buganda, Agnes Kirabo yalangiriddwa ng’omuwanguzi era bw’atyo n’ayingira Palamenti okukiikirira ekitundu kino ekya Buganda mu kulonda okwayindidde e Mubende ku ttendekero ly’abasomesa.
Kirabo yafunye obululu 780 n’awangula eyali akulira abayizi ku Makerere University, Ivan Bwowe eyabadde talina kibiina n’afuna obululu 85. Mike Katongole yafunye obululu 78, Simon Ssennyonga n’abuukayo n’obululu 49 ate Abdu Kalim Ziritwawula nafuna 9, Joe Javiira 2, ate ye Alvin Ssemambya n’afuna akalulu 1.
Okusinziira ku akulira okulonda mu kitundu kya Buganda, Robert Beine yalangiridde Kirabo kuba ye yasinze okufuna obululu obungi. Mu kusooka, akakiiko k’ebyokulonda kaasoose kugoba munnakibiina kya NUP, Moses Kasule mu lwokaano oluvannyuma lw’okukizuula nti yamenya amateeka g’ebyokulonda bwe yasembebwa omuntu omukyamu. Ewalala, Edson Rugumayo owa NRM yawangudde banne okwabadde ne mutabani wa Minisita Beti Kamya ayitibwa Arnold Turwomwe n’awangula obukiise bw’ekitundu kya Western Uganda mu Palamenti.
Rugumayo yakung’aanyiza obululu 1,419 ate Turwomwe atalina kibiina n’afuna 402, Adios Beineomugisha (FDC) yafunye 26 , James Kamukama(NUP) n’afuna 3 ate Edwin Muramuzi (Independent) n’afuna 41 olwo Paul Kato ye n’atafunawo kalulu konna.
E Mbale, munnakibiina kya NRM Bernard Odoi yawangudde abalala bataano n’afuuka omubaka w’abavubuka mu kitundu kino. Mu mambuka era Munna NRM, Boniface Henry Okot yawangudde be yabadde nabo mu lwokaano.
So nga mu kusooka Phiona Nyamutooro yalangiriddwa ng’awangudde eky’omukiise w’abavubuka abawala mu Palamenti.
Okusinziira ku tteeka, abavubuka mu ggwanga lyonna bakiikirira ababaka bataano, ku bano bana bava mu bitundu ebyenjawulo ate omubaka w’abavubuka abawala wonna mu ggwanga n’aweza omuwendo gw’abataano.