Bya Ssemakula John
Kampala
Eyalondeddwa okukulira okukunga n’okunnoonyeza ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) obuwagizi, Rosemary Sseninde agamba nti ajja kukakasa nti ekibiina kikola ku nsonga ezavaako NRM okuwangulwa mu Buganda mu kalulu akawedde aka 2021.
Bino Sseninde yabyogeredde mukukwasibwa woofiisi ku kitebe ky’ ekibiina ku Kyadondo Road mu Kampala.
“ Kino sigenda kukikola nzekka naye tugenda kukolera wamu nga ttiimu. Wajja kubaawo ensonga wetujja okwetaagira okuwabulwa kwa Pulezidenti ku ngeri gyetulina okutambulamu,” Sseninde bwe yannyonnyodde.
Kinajjukirwa nti ekibiina kya NRM kyakola bubi mu Buganda era abanene bangi okwali omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, baminisita abalala awamu ne Sseninde yennyini tebasobola kudda mu Palamenti.
Abatunuulizi b’ensonga ekya NRM okuggwa mu Buganda bakiteeka ku nsonga nnyingi omwali abavubuka abajjumbira ennyo akalulu, ebbula ly’emirimu , enguzi, obusosoze wamu n’okujja kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine n’ekibiina kye ekya NUP.
Sseninde yagasseko nti NRM okufiirwa obuwagizi mu Buganda bwekitali kwelariikiriza kuba nebiseera ebiyise waliwo FDC lweyagitwalako ebitundu ebimu eby’eggwanga naye bamala nebabyeddiza oluvannyu,a lw’okwetereeza.
“Tukimanyi era tulina ebimu byetutandise okukolako naddala ebikwata ku bavubuka. Mbadde mu Palamenti okumala emyaka 20 n’olwekyo ensonga eziruma abavubuka nzimanyi era njakufuba okulaba nti zino zikolako,” Sseninde bwe yagambye.