
Bya Francis Ndugwa
Lubiri – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka era omukulu w’Ekika ky’ Ekkobe, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba asoomozeza abantu ba Kabaka okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe mu kukuuma nokunyweza Nnamulondo naddala ku mulembe guno nga waliwo abasekeeterera Obwakabaka.
Okwogera bino abadde aggulawo omwaka gw’Amakula 2024 mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.
Omutaka Mutumba agamba nti beewale obutawubisibwa Tekinologiya nókumukozesa omutimbagano mu ngeri entuufu egenderera okunnyweza Nnamulondo.
Jjajja Kizito Mutumba akubiriza abantu ba Ssaabasajja okuba abasaale mu kukuuma n’Okunnyweza Nnamulondo baleme kutwalibwa mutimbagano kuba waliwo abalina ebigendererwa by’okuwabya abantu ba Kabaka.

Omutaka Namwama era asabye Abaami ba Kabaka okwewala okwenyigira mu mivuyo gye ttaka okukuuma ekitiibwa kya Buganda .
Ye Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk.Moses Luutu alaze okutya olw’ettemu ku bavuzi ba Booda eryeyongedde era asabye abavunanyizibwa okukangavvula mu ngeri esaanidde abenyigidde mu ttemu.
Akulira Olubiri lwa Kabaka e Mengo, Omuk. Ssewava Robert asabye abakulembeze okubangulwa nokunnyikiza mu bantu ba Kabaka obukozi bakomye okwagala ebyendola wabula beekolerere nga Buganda lwejja okugenda mu maaso.
Ye Ssenkulu wa Brooks Agro Farm, Bugaya Denis asabye bannamakolero banne naddala Abaganda obuteerabira gyebava era batuukirize obuvunannyizibwa bwabwe eri Nnamulondo.
Abaami b’Eggombolola nabantu abalala abakiise embuga baweze okuweereza Ssaabasajja awatali kumutiiririra ate mukwennyigira mu nteekateeka ze.
Ku Ggombolola eziguddewo omwaka guno kuliko; Mutuba IV Kawuga ne Mutuba VI Kasawo okuva e Kyaggwe , Eggombolola ya Mutuba 1 Nangabo mu Kyaddondo wamu naba Brooke’s Agro Farm Limited kwosa Omwami w’Eggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe eyawumula Ssaalongo Kiseka Livingstone .









