Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Nnamungi w’omuntu yakedde kweyiwa ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo okwegemesa ekirwadde kya Ssennyiga Corona ku bwereere mu nteekateeka ewagiddwa Obwakabaka awamu ne bannamikago okuli Uganda Breweries, PSFU n’abalala.
Bano baasimbye ennyiriri okuva ku Wankaaki okutuukira ddala ku mulyango oguyingira mu kizimbe kya Masengere wabula eky’enjawulo zino zibadde zitambula wakati mu kukuuma ebiragiro bya Ssennyiga Corona era ekitongole kya Red Cross kibadde kiyambako okulung’amya abantu okusobola okwegemesa mu budde.
Akulira bakitunzi mu kkampuni ya Uganda Breweries, Jackie Tahakanizibwa yategeezezza ng’abantu bwe baawulidde ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka nga zaagenze okuwera essaawa 7 ez’emisana ng’abantu abawera 3500 be bamaze okugemebwa.
Ate ye akulira okwegemesa ekirwadde kino mu ggwanga, Dr. Daniel Kyabayinze yasinzidde wano n’asiima Obwakabaka ne bannamikago olw’okukunga abantu mu bungi ate ne bajja kuba kino kyongedde ku muwendo gw’abantu abagemeddwa.
Wabula Dr. Kyabayinze omukwanaganya w’okugema Covid 19 mu kitongole ky’ebyobulamu mu gavumenti eyaawakati yalabudde abagemeddwa omulundi gwabwe ogusooka okwekenneenya eddagala lye babakubye kibayambe mu kufuna akayiso akookubiri obutatabiikiriza kika kya ddagala.
Kinajjukirwa nti Minisitule y’ebyobulamu ezze esiitaana n’okukunga abantu okwegemesa wabula okuva Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ne Katikkiro Charles Peter Mayiga lwe basitukiramu, embeera eno egenze ekyukamu naddala wano mu Buganda.
Abamu ku baganyuddwa mu nteekateeka eno bategeezezza nti bulijjo balinze ekiva embuga okusobola okwettanira enteekateeka eno era ne basaba Omutanda asiimye okugema kuno kutwalibwe mu masaza ga Buganda kuba bangi ku baliyo tebannaba kugemebwa.