Beijing -China
Nnamukadde mu ggwanga lya China awuniikiridde bw’azudde muwala we eyamubulako nga muto nga ye mugole gwe babadde bagenda okugatta ne mutabani we mu buvanjuba bw’eggwanga lya China.
Okusinziira ku mukutu gwa Sohu News, kino kyazuuliddwa ku mbaga kwennyini eyabadde etegekeddwa mu Kabuga Suzhou, Jiangsu nga March 31.
Nnyina w’Omulenzi agamba nti yekkaanyizza omuwala ono ng’alina ebbala ku mukono erifaananira ddala ne lya muwala we eyabula lye yalina nga muto.
Wadde okufaanana si Luganda, Nnamukadde ono yalemeddeko okuzuula ekituufu era n’abuuza bamulage bazadde b’omuwala ono era n’ababuuza ono be bamuzaalira ddala oba baafuna mufune.
Ono yabatereddeko emboozi ku bbala lino n’engeri muwala we gyeyabula era nabo kwe kumubuulira amazima nti si be bazadde be abaddala kuba baamufuna akyali muto. Ensonga bazituddemu mangu awo era ne kikakasibwa nti kituufu ono ye muwala wa Nnamukadde eyali yabula nga muto.
Kyazuuse nti omwana ono yali amaze emyaka 20 ng’abuze ku nnyina era abaamufuna bamulonda ku kkubo ng’abuliddwa gy’alaga. Ate olowooza awo embaga si we yakomye! Omukolo ne guyimirizibwa olwo nebadda mu kumanyagana.
Embaga oluvannyuma yazzeemu olw’ensonga nti n’omulenzi bano si be bazadde be abaddala naye bafuna mufune naye abagole balabiddwako mu butambi ng’amaziga gabayitamu era wano omuwala yalabiddwako ng’alemedde mu kifuba kya Nnyina eyali yamubulako emyaka 20 egiyise.
Tekyategeerekese ngeri ki omwana ono gye yabula ku nnyina wadde abamu olukwe balusonze ku muze gw’okuwamba n’okukusa abaana oguli mu ggwanga eryo.
Era tekimanyiddwa oba n’omulenzi anaatandika ku mulimu gw’okunoonya bazadde be abatuufu kuba ebyama byonna byabadde bikwekuddwa.