• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Nnaalinnya Dr. Nabaloga asabye abazadde okusomesa abaana empisa n’olulimi okunyweza Buganda

Gambuuze by Gambuuze
February 22, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Nnaalinnya Dr. Nabaloga asabye abazadde okusomesa abaana empisa n’olulimi okunyweza Buganda
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Nnaalinnya Lubuga, Dr Agnes Nabaloga asabye abazadde okugunjula abaana nga balina empisa era nga bamanyi olulimi lwabwe kiyambe okunyweza Buganda n’okugikulaakulanya.

Okusaba kuno Dr. Nabaloga akukoledde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde aggulawo omwaka gw’Amakula 2023 ku Lwokusatu n’okutikkula bannamukisa abaguddewo omwaka guno  abakulembeze b’ebitongole ebyenjawulo mu nzikiriza y’Abadiventi.

Nnaalinya Nabaloga abazadde abasabye okwagazisa  abaana obuwangwa n’ennono bibayambe okutambula obulungi mu nsi.

Ono era afalaasidde abantu okuzaawo n’okukuuma obutondebwensi  okutaasa eggwanga eryenkya okugwa mu bizibu.

Bannamukisa abaguddewo omwaka guno kubaddeko abakulembeze b’ebitongole ebyenjawulo mu nzikiriza y’Abadiventi era bano baweze bulijjo okuwanirira ennono y’okuleeta Amakula embuga okusobola okulaba nti embiri z’Omutanda teziggwamu byakulya.

Ye Minisita w’Obuwangwa ne nono era avunanyizibwa ku lulimi mu Bwakabaka,  Owek.David Kyewalabye Male mu kwogerakwe asabye abantu ba Ssaabasajja bulijjo  okufaayo okutuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe eri Nnamulondo nga lwejja okusobola okuggumira.

Omusumba w’ Abadiventi, Peter Nsereko Male Kisomokamazzi,  asinzidde wano nalaga obwennyamivu olw’ emize egy’obugwenyufu egikyase mu bantu naddala mu masomero kyokka nasaba buli muntu okugirwanyisa.

Ebitongole ebikiise embuga kubaddeko Bangafi Agro Foretry , Hallmark construction and painting company , Light secondary schools Bulenga , Elmu company , Brooks Agro Farm nabalala era bano baweze okuweereza Beene nga bayita mu mirimu gyabwe.

Amakula y’ennono etuukirizibwa abantu ba Ssaabasajja okulaba nga embiri ze teziggwamu byakulya era buli Lwakusatu abantu ka Kabaka okuva mu ggombolola ez’enjawulo bakiika embuga okutuukiriza ennono eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist