Musasi waffe
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda ku Lwomukaaga wakwogerako eri abaana bwonna mu Buganda ng’ayitira ku mutimbagano.
Okusinziira ku minisita avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma, Nnaabagereka wakogerera ku mukutu gwa zoom.
Yagambye ekigendererwa ky’okwogera kuno kwekuwulira ebirowoozo by’abaana naddala mu kaseera kano ak’emyezi esatu gyebamaze ku muggalo nga tebasoma.
Nankindu asabye abazadde okuwa abaana ku masimu gaabwe wamu n’okubeerawo okubayambako okubuuza ebibuuzo.
Okwogera kwa Maama Nnaabagereka kwakubaayo wakati w’essaawa ennya n’etaano ez’emisana.