Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Minisitule y’Ekikula ky’Abantu butegese ttabamiruka w’abakyala 2026, atambulidde ku mulamwa “okusobozesa abakyala okukulemberamu enkyuukakyuuka mu by’obusuubuzi, eby’obulamu n’ebyobutonde bw’ensi.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu kuggulawo ttabamiruka w’Abakyala ba Buganda 2026 asibiridde abakyala entanda ku by’obulamu, eby’obusuubuzi, n’obutondebwensi.

Nga yeesigama ku mulamwa gwa ttabamiruka w’omulundi guno, ku nsonga y’ebyobulamu, Nnaabagereka agamba nti omukyala omulamu y’asobola okuteekerateekera amaka, mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, omukyala alina okwekebeza endwadde, okulya emmere entuufu ate nga nsaamusaamu, n’okukola dduyiro.
Ku nsonga z’obusuubuzi, Nnaabagereka agambye nti abakyala basobolera ddala okwenyigira mu busuubuzi obutali bwa kugenda bweru w’eggwanga nga batandikira ku bintu ebyangu okugeza; okulunda enkoko, okutunda amagi, ebirime, ssaako okutundira eby’amaguzi ku mutimbagano.
Bw’abadde ayogera ku butondebwansi, Nnaabagereka Sylvia Nagginda ategeezezza nti Abakyala balina ekifo kya nkizo mu kukuuma obutondebwansi singa bafaayo okulaba nti emiti egisimbiddwa gikula bulungi, n’okulabirira ensulo z’amazzi n’ebyobulimi. Maama agamba nti kino kiyamba kinene nnyo mu kukuuma obutondebwensi n’okuwa ekifaananyi ekirungi eri abaana n’abazzukulu mu mirembe egiddako.
Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, annyonnyodde ku bukulu bw’okukuuma obutondebwensi omuli okusimba emiti mu mikolo egitali gimu, n’agamba nti kino kiddayo eri abakyala kubanga bakozesa enku mu kufumba, akabonero akalaga nti obutondebwensi bukosebwa. Asinzidde wano n’asaba Abakyala bakubirize abavubuka okukungaanya obuccupa oluvannyuma basasulwe bakitwale nti obuccupa buvaamu ensimbi n’emiganyulo emirala.

Ttabamiruka ono yetabiddwamu abakyala okuva mu Masaza ga Buganda gonna, abakyala abeegattira mu bibiina eby’enjawulo okuli abafumbo mu Ekelezia, mu Kkanisa n’abagwa mu miteeko emirala.









