• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Nnaabagereka Nagginda alaze obukulu bw’eddoboozi ly’abaana mu kunyweza obumu

Gambuuze by Gambuuze
April 17, 2026
in Amawulire
0 0
0
Nnaabagereka Nagginda alaze obukulu bw’eddoboozi ly’abaana mu kunyweza obumu
0
SHARES
1
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Huzairu Jjuuko Wasajja

Mmengo – Kyaddondo

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abazadde bonna mu Buganda okufaayo ennyo okunnyikiza obumu mu baana n’okubawuliriza naddala ku bibasoomooza mu bulamu kiyambeko okulwanyisa ebyo ebiyinza okubaviirako emitima gyabwe okwennyika.

Nnaabagereka okwogera bino abadde mu Lubiri e Mengo ng’Obwakabaka bukuza olunaku lw’abaana olutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “okunnyikiza obumu n’okukuuma eddembe ly’abaana okuzza Buganda ku Ntikko.

“Omulamwa gw’omwaka guno gulina obuvunanyizibwa bwe gututuma, abaana, abazadde, n’abantu bonna abakola ku nsonga z’abaana wamu n’abakulembeze ku mitendera gyonna, okuwa abaana omukisa okumanya eddembe lyabwe, okubawa omukisa okwogera ensonga ezibasoomooza naddala bye bayitamu awaka, mu masomero ne mu bitundu yonna gye babeera” Nnaabagereka Nagginda

Nga yesigama ku mulamwa gw’olunaku luno, Nnaabagereka asabye abazadde bonna mu Buganda okufaayo okunnyikiza obumu mu baana babwe nga balwanyisa ebyo ebiyinza okubaviirako emitima gyabwe okwenyika, ng’obutabanguko mu maka, okubatikka emirimu egisukka obusobozi bwabwe n’ebirala.

Maama wa Buganda ajjukizza abazadde okufaayo okuwa abaana baabwe omukisa okwogera ebibasoomooza mu bulamu bwabwe era ng’agamba kibakakatako nga abazadde okumanya ebiluma abaana baabwe oluusi ebibaggya ne ku mulamwa ng’ogwokusoma, okukola n’emirala. Nnaabagereka agamba nti kikulu nnyo abaana okufiibwako n’okubawa omukisa awatali kusosolebwa mu kikula kyabwe era babawe n’ebyetaagisa byonna mu bulamu nga bakula.

Nnaabagereka era asabye abaana mu Buganda okufaayo okumanya obusobozi bwabwe naddala mu kutumbula ebitone byabwe nga tebalinnyiridde ddembe lya bannaabwe era abeewazizza okubeera ba kyetwala, bawulirize nnyo abantu abakulu naddala bazadde baabwe n’abasomesa.

Nnaabagereka Nagginda era ajjukizza abaana mu Buganda okukozesa eddoboozi lyabwe mu ngeri ennungi NGA basoosowoza obuntubulamu mu buli kye bakola, abakubirizza okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe ewaka, ku ssomero n’okweyisa obulungi mu bantu.

Minista w’Ekikula ky’Abantu mu Buganda era avunanyizibwa ku baana Owek. Mariam Nkalubo Mayanja Nasejje yebazizza abakulu b’amasomero abaaleese abaana ku mukolo guno, era wano ayongedde n’akubiriza abazadde okunyweza amaka bawe eky’okulabirako ekirungi eri abaana baabwe nga beewala abutabanguko.

“Tukubiriza abazadde okunyweza amaka gammwe, mwewale okuneneŋŋana mu maaso g’abaana bafube nnyo okubagunjula mu mpisa n’ennono zaabwe”. Minisita Mariam, ayongedde ne yebaza Maama Nnaabagereka olw’okulwanirira eddembe ly’abaana abato nga abateerawo ekisaakaate okubagunjula.

Nakafu Esther Ssentebe w’enteekateeka zino yebazizza nnyo Nnaabagereka wamu n’Obwakabaka bwa Buganda olw’okuteekateekanga emikolo gino buli mwaka ng’agamba kiyambye nnyo abaana okumanya ennono n’obuwangwa bwabwe, ono akubirizza abazadde okubeera abasomesa abasookerwako mu kugunjula abaana kisobozesse okukuuma eddembe ly’abaana n’okuzza Buganda ku ntikko nga omulamwa gw’enteekateeka bwe gubadde.

Ye Namulwana Hellen Grace, ono Ssentebe wa NECDA ku lwa Bannamikago bonna yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’enkolagana ennungi n’abantu ate n’olwenteekateeka eziganyula abantu.Ku mukolo guno abaana okubadde ab’obuwala n’abobulenzi baloopedde Nnaabagereka ebibasoomooza mu bulamu bwabwe okuli okulinyirirwa kw’eddembe lyabwe okuli n’okubatemula nga bwe kyalabiddwako e Ggaba, n’obutabanguko mu maka mu bazadde bwe bagamba nti bubakoseza ennyo ng’abaana.

Abaana boolesezza ebitone n’obumanyi mu kuyimba, okuzina, okusoma bwino, okukubaganya ebirowoozo n’ebirala, bolesezza ebiyiiye ebyenjawulo nga byonna byesigamiziddwa ku mulamwa gw’olunaku luno, basanyusizza abagenyi abazze ku mukolo gwabwe ne babagabula ne kkeeki esaliddwa nga bakulembeddwamu Maama Nnaabagereka.

Omukolo gwetabiddwako Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Ssaabawolereza Christopher Bwanika, Minisita Choltilda Nakate Kikomeko, Omutaka Nsamba Aloysius Magandaazi Lubega, Abaami ba Kabaka Ab’amasaza, Bassenkulu b’ebitongole, abakulira ebitongole by’abakyala mu Masaza ag’enjawulo, bannamikago abakulembeddwamu aba World Vision n’abantu ba Kabaka abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.