
Bya Ssemakula John
Makindye – Kyaddondo
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye bannayuganda naddala abo abalina obusobozi mubiseera bino eby’ebijaguzo by’ Amazuukira ga Yesu Kristo okukwasizaako abo abali mu bwetaavu nabo basobole okuyita mu nnaku zino obulungi.
Okusaba kuno Nnaabagereka akukoledde Makindye ku kitebe ky’ ekitongole ki Hospice Africa ekirabirira abantu n’abaana abalina endwadde ezitawona ku kabaga k’ amazaalibwa ga Kristo ag’omwaka 2022 .
Maama Nagginda era asinzidde ku mukolo guno nakwasa abalabirira ekifo kino ebintu ebyenjawulo ebigenda okubayamba okuyita mu nnaku zino ebimanyiddwa nga ‘Christmas hampers’.
Nnaabagereka yeebaziza ekitongole ne bannamikago abafuddeyo okulabanga embeera y’abaana bano ebeera nnungi nabo okusobola okweyagalako nga abaana abalala.
Omukungu wa Nnaabagereka Development Foundation (NDF), Jude Kamanyi annyonyodde nti egimu ku misingi NDF kweyazimbibwa kwekutumbula embeera zabaana era agamba nti kyankizo buli muntu okubakumaakuma kubanga lye ggwanga eryenkya.
Akulira ekitongole ki Hospice Africa, Joy Mirembe yebaziza Nnaabagereka olwomutima omuzadde gwabalaga okulungamya n’amagezi gaawa ebibayambyeko okuddukanya ekifo kino.
Bbo abaana abaweereddwa ebintu bya Ssekukulu beebaziza Nnaabagereka olw’okufuuka omuzadde gyebali natabeeganya ekibawadde essuubi.
Enkola eno ebaawo buli mwaka newankubadde yali yayimirira olwa Ssenyiga Corona.









