Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda nga ayita mukitongole ki Nnabagereka Fund wamu ne bannamukago aba I&M bank bavuddeyo okukwatiirako musaayimuto Joel Mwanja Praise ow’emyaka 12 atawanyizibwa omugejjo.
Kino kibikuddwa Minisita w’ Enkulaakulana y’Abantu n’ Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek Chotilda Nakate kikomeko bw’abadde asisinkanye omwana ono wamu n’abamuvunaanyizibwako okulaba bwayinza okuyambibwa.
Mu bubaka bwe obumusomeddwa, Owek. Kikomeko, Nnaabagereka yeebazizza nnyo abantu ssekinoomu abavuddeyo okuyambako omwana ono okuvunnuka obuzibu buno, kyoka neyenyamira olwa balala abagufudde omugano okuvangayo bulijjo nebasekerera abali mu buzibu n’okubasalira omusango.
Owek. Kikomeko agamba nti ensonga z’ ebyobulamu zakukwata mavumbavumba okusobola okukwatirako abo abakosebwa mungeri ezenjawulo nga buli omu akola kyasobola okumalawo okusomooza okwekika kyonna.
Ono asinzidde wano naasaba abantu eb’emyoyo emirungi okuvaayo bakwatireko omwana ono asobole okuvunuka embeera eno.
Omukungu wa Minisitule y’Ebyobulamu mu Gavumenti Eyawakati, Dr. Hafuswa Lukwata agamba nti omugejjo mu baana gweyongedde nnyo ensangi zino bwatyo nasaba abazadde okukubiriza abaana baabwe okukozesa emibiri gyabwe era bafeeyo ku mmere gyebalya.
Dr Lukwata agasseeko nti omugejjo gukossa nnyo abaana ekiyinza okubaviirako endwadde z’omutwe eziva mukweyawula nokusosolebwa ekiyinza okubaviirako okwetusaako obulabe.
Ono era alambuludde ku nsonga eziviirako omugejjo mu baana okuli obutabanguko mu maka, abaana okuwangaala n’omuzadde omu, saako nensonga endala nnyingi.
Bannamukago aba I&M beyamye okukwatirako musaayimuto ono okulaba nga avunuka obuzibu buno bwebatyo nebeebaza maama Nnaabagereka okwokulengera ewala navaayo nekaweefube ono.
Nnyina wa Joel Mwanje, Margaret Nabatanzi Nnyina agamba nti bayise mu kusomoozebwa kungi omuli ebbula ly’ensimbi ezeetaagisa okujjanjaba omwana ono, okumusosola musomero saako n’endwadde endala ezimutawanya omuli n’obulwadde bwa sukaali n’endala.
Nabatanzi awanjagidde abazirakisa okumukwatirako omwanawe asobole okufuna obujjanjabi asobole okubeera nga baana banne.