Bya Ssemakula John
Kampala
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye gavumenti yaawakati okwongera ku mutindo gw’ebyenjigiriza, kiyambe okutumbula ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.
Okusaba kuno Nnaabagereka akukoledde ku Bulange e Mmengo ku Mmande bw’abadde yeetabye mu kukuza olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna, mu nteekateeka ewagiddwa ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation ne World Vision.
Nnaabagereka asabye gavumenti okutereeza ebyensoma, abayizi naddala abawala basobole okufuna ebyensoma ebikwatagana n’emyaka gyabwe.
“Omwana bw’afuna okumanya oba amagezi, kimubeerera kyangu okuloopa, okutebuka oba okugaana eby’okutulugunyizibwa mu ngeri yonna.” Nnaabagereka bw’agambye.
Olunaku luno lukuzibwa buli mwaka era olw’omulundi guno luyindidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Omulembe gwa tekinologiya gwe mulembe gwaffe.”
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asinzidde wano n’asaba abazadde bateeketeeka abaana baabwe aboobuwala nga bakyali bato, tusobole okutereeza omulembe ogujja era babayambe okusobola okwettanira tekinologiya.
“Nsaba abo bonna b’ekikwatako okulaba nti abaana aboobuwala bafuna omukisa okukozesa tekinologiya ow’omulembe guno. Kino kijja kusoboka nga tubawadde obukuumi ku mitimbagano n’obusobozi obukozesa tekinologiya ono.” Nnaabagereka bw’annyonnyodde.
Ng’akabonero k’okutumbula okwekkiririzaamu mu mwana omuwala, Nnaabagereka awaddeyo woofiisi ye eri musaayimuto Trea Ebriel Namakula, ayige engeri gye batambuzaamu emirimu.
Musaayiuto Namakula Trea agambye nti ebyenjigiriza by’omwana omuwala birina okusoosowazibwa, kuba okutendeka omwana omuwala obeera otendese ggwanga lyonna.
Kino era kikoleddwa ne Ssenkulu wa BBS Terefayina, Omukungu Patrick Ssembajjo, naye awaddeyo woofisi ye eri Angel Nakiyingi okumuwa embavu n’okwekkiririzaamu nti naye asobola okubaako ebyannaggwano by’akola mu nsi eno.
Mu kaweefube y’omu, abayizi; Atukunda Favour ne Katusabe Christine, beegasse ku Faridah Nakayiza okusoma amawulire ga Gy’otobadde ku Terefayina, okwongera okwekkiririzaamu.
Omukungu wa World Vision avunaanyizibwa ku baana, Irene Kagoya ategeezezza nti ekitongole kifuna okwemulugunya ku mpeereza mu gavumenti naddala woofisi ezivunaanyizbwa obuterevu ku baana, n’asaba zongerwemu amaanyi.
Bino we bijjidde ng’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation kikyagenda mu maaso n’okutumbula omwana omuwala nga kiyita mu misomo egy’enjawulo egitegekebwa wamu n’okumubangula nga kiyita mu Kisaakaate kya Nnaabagereaka, ekitegekebwa buli mwaka.