Bya Ssemakula John
Butambala
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abantu yonna gye bali, okunyweza obuntubulamu era baleme kubutwala nga bwa lusaago okusobola okwewala ebizibu ebituuka ku baana aboobuwala n’aboobulenzi.
“Ekintu ky’obuntubulamu kikyatubulamu nnyo; kwe kugamba obuntubulamu si bwe bwo obugayaavu bwe mulowooza nti oba tolina kwogera. Obuntubulamu kitegeeza bugunjufu, kitegeeza kufaayo, kubeera na buvunaanyizibwa, okubeera omwesigwa n’okuwang’ana ekitiibwa. Abaana aboobuwala okuwa emibiri gyabwe ekitiibwa si kya bunafu. Singa onyweza obuntubulamu, omusajja oba omukazi tajja kukola bikolwa bitali bya buntu.” Nnaabagereka Nagginda bw’agambye
Bino Nnaabagereka Nagginda abyogeredde Butambula bw’abadde yeetabye ku kujaguza olunaku lw’omwana omuwala wansi w’omulamwa “Okutumbula Tekinologiya ow’ekikugu mu baana abawala” mu nteekateeka eyawagiddwa aba Nnaabagereka Development Foundation n’ekitongole kya World Vision.
Nnaabagereka mukakafu nti abaana ababanguddwa World Vision ne Nnaabagereka Development Foundation, bamanyi bulungi ensonga n’eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka nga kizibu omuntu yenna okubalimbalimba n’abakozesa ebintu ebikyamu.
Maama Nagginda annyonnyodde nti singa obuntubulamu bweyongerako mu ggwanga, ensi ejja kusobola okukulaakulana. Asabye ababaka ba Palamenti okukiteekako essira kuba wadde kyogeddwa nnyo ku baana abato naye n’abantu abakulu kibakwatako.
Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda era omubaka w’ekitundu ky’e Butambala, Muwanga Kivumbi asabye abazadde okwongera okufaayo eri abaana baabwe era boogere nabo basobole okukola okusalawo okutuufu.
Wano Prof. Badru Kateregga w’asinzidde n’asaba abazadde okukomya okutunuulira abaana abawala ng’ekyamaguzi kuba basobolera ddala okuba aboomugaso okusinga abalenzi singa babeera bateekeddwatekeddwa obulungi era ne bayigirizibwa.
Ye omubaka wa Pulezidenti e Butambala, Sulaiman Lubega asabye abaana naddala aboobuwala okutuukirira ab’obuyinza singa babaako okukabassanyizibwa oba okutulugunyizibwa kwe basanga, kuba lino ddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka.