Bya Stephen Kulubasi
Bulange -Mmengo
Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, asiimye abakyala olw’okujjumbira obukulembeze era n’abasaba okwongera okwettanira okuweereza era bakikole mu bwesimbu.
Okusaba kuno Nnaabagereka akukoledde mu Bulange bwabadde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakyala mu Buganda, leero ku Lwokusatu. Nnaabagereka asoose kulambula ebintu by’emikono ebyenjawulo ebikolebwa abakyala okuva mu masaza ag’enjawulo.
“Nsanyuse okulaba nti omuwendo gw’abakyala abeenyigidde mu bukulembeze gweyongedde era kye mbakuutira nsaba mukole nnyo n’obuvunaanyizibwa era muweereze n’obwesimbu kuba kye mugenzeemu buweereza.” Nnaabagereka bw’ategeezezza abakyala ababadde ku mukolo guno.
Nnaabagereka Nagginda agambye nti baalonze omulamwa guno olw’ensonga nti Ssennyiga Corona akosezza nnyo abakyala mu ngeri ezitali zimu era n’ayongera obutabanguko mu maka wadde ng’okusooka baalowooza nti famire zaali zaakubeera wamu.
Ono annyonnyodde nti embeera y’ebyenfuna mu maka bwe byasannyalala abaami abamu ne basalawo obuvunaanyizibwa okubulekera abakyala. Nnaabagereka agambye nti ekirwadde kya COVI-19 kyasindiikiriza abaana abawala okufuna embuto abamu ne bakuba obwamalaaya ate abalala abazadde ne babaggya mu ssomero olw’obutaba na nsimbi ne balekayo abaana abalenzi.
Okusinziira ku Nnaabagereka, wadde embeera yali mbi okutuuka ku kifo naye abakyala bafuba okusigala nga bayiiya ne basobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
“Abakyala balina amagezi, bakozi, baagala naye era beetaaga okukwatibwako ne balinnyisa omutindo gw’ebyo bye bakola era ne bafuna n’obutale.” Nnaabagereka bw’agambye.
Agasseeko nti abakyala beefubyeko nga buli mulimu basobola bulungi okugukola era ne bettanira n’obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
Nnaabagereka Nagginda akakasizza nti ensi Uganda Katonda yagiwa era buli kintu ekyetaaga okubaako ekikolebwa weekiri wano, n’asaba abakyala okwongeramu amaanyi.
Ono asabye abakyala okunyweza ennono yaabwe mu baana wakati nga baagala okukulaakulana n’okutwala Buganda mu maaso.
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga naye alambudde omwoleso guno era n’asiima abakyala olw’okwewaayo n’akiggumiza nti Buganda bw’eba yaakudda ku ntikko, abakyala balina kubeera ku mwanjo era n’asaba abaami okubawagira.
Guno gwe mulundi ogusoose okukuza olunaku lw’abakyala era lutambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Wadde nga waliwo okusoomoozebwa kwa Ssennyiga Kkolona, tekirobedde bakyala kwenyigira kyenkanyi mu bukulembeze.”
Omukolo guno era gwetabiddwako abakungu abalala okuva mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation, baminisita, abakungu wamu n’abakyala abaawungudde ebifo mu kalulu akawedde.