Bya Ssemakula John
Kikajjo- Nakawuka
Nnaabagereka Sylvia Nagginda agumizza ab’enju ya Minisita David Kyewalabye Male olw’okufa kwa mukyala we era mama w’abaana Rosalind Kyewalabye eyafa ku ntandikwa ya Ssabbiiti eno, n’aziikibwa e Kiweebya Mityana mu Ssingo.
Maama Nnaabagereka agambye nti tewali kubuusabuusa, Rosalind Kyewalabye ali mu kifo ekituufu kubanga abadde muntu atambulira ku Katonda obulamu bwe bwonna. Ab’enju abasabye okuguma basobole okutwala mu maaso obulamu.
“Ebiseera byo birina okugenda mu maaso, n’okufa tekuyimiriza ddakiika, mulina okutambula era amaka gano tugaleka mu mikono gya Mukama.” Maama Nnaabagereka bw’agambye.
Bino Maama Nnaabagereka abyogedde agenze okukubagiza ab’enju eno, e Kikajjo- Nakawuka mu Busiro leero ku Lwokutaano.
Mu maka gano olwaleero era mutegekeddwamu okusaba nga kuno kukulembeddwamu Rev. Samuel Kalibbala, asabye ab’enju eno okwongera okwekwata Katonda.
Owek. Male yeebazizza Maama Nnaabagereka olw’okugenda n’amusaasira era n’amugumya.
Kyewalabye asiimye gavumenti ya Beene eyaawakati, wamu n’abantu ab’enjawulo abayimiridde naye mu kiseera kino eky’okusoomooza.