Musasi Waffe
Balam Barugahare, omutegesi w’ebivvulu mu Kampala avuddeyo n’ategeeza nti akooye Bannayuganda okumusabiriza. Ng’ayogerako ne ttivi ya Spark, Balam yagambye nti newankubadde atera okusisinkana omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, tamuwangayo yadde omunwe gwennusu.
“Ndi munyiivu; nkooye abantu okujja wano nga bansabiriza ssente mbu kubanze atuukirira pulezidenti. Bannange Bannayuganda, mulekeraawo okujja okunsabiriza, nange sizirina, tewali sente zebaali bampadde, manja ssente ezitali mu mitwalo, ziri mubuwumbi,” Balam bweyagambye. Yagasseko nti singa abamusabiriza tebakoma yandiwalirizibwa okuddayo ewaabwe e Masindi alime ebikajjo kubanga tamanyi kyakukolera bannayuganda. “Omuntu nakukeera mbu omwana wange mulwadde, nafiriiddwa, bannange temumanyi woofiisi ya pulezidenti oba NRM weeri?. Kituufu ngenda n’endaba pulezidenti naye tampa sente, nze muteekamu. Siryangako ku ssente za Museveni,” Balam bweyagambye Yagasseko nti era simusanyufu olwa pulezidenti okusisinkana abayimbi nga Butcherman, Catherine Kusasira, Full Figure n’abalala nabawa ssente ate neyerabira abagoberezi ba NRM lukulwe. “Kinewunyisa nti kati ennaku zino omuntu aleekanamu katono nga bamuwa ssente,” Balam bweyagambye.