Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Twongera okusaba gavumenti okussa essira ku kusomesa ennimi ennansi.
Bino bibadde mu bubaka Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka Oweek. Choltildah Nakate bw’abadde yetabye ku mukolo gw’okukyusa obukulembeze mu kibiina kya Baganda Nkobazambogo ku ssomero lya Ssaabasajja Kabaka Lubiri High School ettabi ly’e Mmengo mu Lubiri.

Minisita Nakate asabye ababaka ba paalamenti okusemba ebiteeso Obwakabaka bye bwawaayo ku kukulaakulanya ennambika empya ey’okusoma mu ggwanga nga muno mwalimu okussa essira ku kusomesa ennimi ennansi, buli muntu yenna okusoma ebyafaayo mu bifo gye bava, buli mwana okusoma ku by’okulima n’okulunda wakati mu kasera nga bino bye bisinga okuyingiza ssente mu ggwanga. Ategeezeza nti ebirowoozo bino byonna byaweebwayo Obwakabaka eri gavumenti okusobola okunyweza obuwangwa n’ennono mu ggwanga.
Oweek. Choltildah asabye abakulembeze abagya okutwala mu maaso enkiiko abayizi ze batuuza buli Lwakuna era musanyufu nnyo nti bayita muno okubulirira bannaabwe ensonga ezibakwatako ekibayambako okukola omugendo gwe baagala Obwakabaka okukwata.
Mu ngeri y’emu, Oweek. Nakate asabye abakulembeze okwettanira ennyo enkola y’Omulembe guno omuli; okukola ebisikiriza abayizi abalala, okusitula omutindo mu byebakola awamu n’obwerufu.
“Mbakuutira okwagazisa abayizi abalala ekibiina kino, okusitula omutindo nga temukola bintu bya gadibengalye wabula ebintu ebigya mu mulembe omuggya awatali kukoowa,” Oweek. Nakate.
Minisita Nakate agamba nti kyankizzo okukyusa obukulembeze kubanga Ssaabasajja yakwasa abavubuka omulembe guno n’olwekyo baasanidde okugweyagaliramu n’okwejaga.
Omukulu w’essomero lino Omuk. Immaculate Nampijja agamba nti nga bayita mu kibiina kya Nkobazambogo balina enteekateeka mu ssomero ewa abayizi omukisa okwetegekera omukolo nga guno era musanyufu olw’ebibala abayizi bye bajamu omuli okutendekebwa okwogera, okukola ennyo ekibayambye okukulakulaana nga kati bafunye n’omubaka wa paalamenti Hon. Nkerettanyi Yusuf.

Omuyima w’abayizi mu kibiina kino Muky. Ritah Namata agamba nti Nkobazambogo yaggulibwawo eri buli muyizi mu somero okuwa omwaganya abayizi bonna okufuna ku birungi eby’enjawulo abayizi bye bafunamu nga okuyiga empisa, okutumbula ebitone n’ebirala.
Omubaka wa Kalungu East mu lukiiko lw’eggwanga Olukulu Hon. Kiruluta Yusuf Nkerettanyi nga ate yasomerako ku ssomero lino akubiriza abayizi okwongera ku mutindo nga enjogera ya Katikkiro ensangi zino era asabye abakulembeze okubeera ab’omuwendo mu ntambuza yaabwe ey’emirimu nga baweereza bayizi bannabwe.
Ssentebe wa Nkobazambogo omuwummuze ye Kaaya William Zabroni nga amudidde mu bigere ye Nsubuga Trevor Titus. Nsubuga yeebaziza nnyo abasomesa b’essomero lino obutakugira muntu yenna kweyunira mu bifo by’obukulembeze bwatyo asabye abayizi okukulembeza empisa okusobola okutuuka ku buwanguzi.

Ekibiina kya Nkobazambogo mu ssomero lino kiwezezza emyaka 27 nga amasomero ag’enjawulo getabye ku mukolo guno okubadde Lubiri SS, Kololo SS awamu n’abazadde bangi nnyo.









