Bya Ssemakula John
Kampala
Munnabyamizannyo omusituzi w’obuzito eyali abulidde mu Japan, Julius Ssekitoleko, alaajanidde gavumenti emuyambeko afune eky’okukola asobole okuyimirizaawo famire ye.
Okusaba kuno Ssekitoleko yakukoze ggulo ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli gye yabadde aggaliddwa olw’okugezaako okubulira mu ggwanga lya Japan gye yabadde agenze okwetaba mu mpaka z’ensi yonna eza Olympics.
Ono agamba nti wadde ajja kusigala ng’asitula obuzito naye era yeetaaga omulimu omulala ogusobola okumubeezaawo era n’asaba abalina kye basobola okukolawo bamuyambe.
“Njagala gavumenti ennyambe okufuna omulimu gwe nsobola okukola nga bwetendekebwa okusitula obuzito.” Ssekitoleko bwe yagambye.
Kyategeerekese nti mukyala wa Ssekitoleko yagobebwa mu nnyumba nga bba ali Japan, era kati Ssekitoleko ne mukyala we tebalina we basobola kuddukira, okuggyako okugenda ewa maama we.
Ku nsonga lwaki yabulira e Japana, Ssekitoleko agamba nti embeera yamutabukako oluvannyuma lw’okutuuka e Japan n’ategeezebwa nti tagenda kuzannya mu mpaka zino era kwe kusalawo okubula ng’awulira ekirooto kye kikomye.
Munnamateeka wa Ssekitoleko, Phillip Munaabo, yagambye nti omuntu we baamuvunaanye okwekobaana ne bakola obufere era okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.