Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye teri kubuusabuusa nti Buganda yakufuna federo, n’olwekyo, Obwakabaka bulina okutandika okugyeteekateekera. Ng’ayogerera mu Lusirika lwa Bakulembeze ab’okuntikko mu Buganda, oluyindira ku Brovad Sands Lodge mu ssaza lya Kabaka erye Ssese, Mayiga yategeezeza nti olw’okweteekateekera federo, Obwakabaka bwakizuula nti kyali kyetaagisa okukendeeza ku bwa nnakyewa e Mmengo. Katikkiro yagasseko nti mu Mukutulansanja wo’mwaka guno, Beene yakola enkyukakyuka mugavumenti ye nakendeeza baminisita n’obwannakyewa ku mutendera ogwo nebugyibwawo, okusobola okunnyikiza obuweereza nga baminisita batuula mu makkakalabizo gaabwe okuva kumakya okuzibya obudde ennaku zonna ez’okukola.
“Oluvanyuma lwa Kabaka okutuula ku Namulondo emyaka 25, twakiraba nti byetufunye mubwannakyewa bisaana okwongerwayo mumaaso nga birabirirwa bulungi. Twagala kufuna federo, tulina okutandika okweteekateeka n’okumanyiira obuweereza obwo [obutali bwannakyewa]. Sikirungi federo kujja nga tetumanyi nzirukanya ya mirimu nnungamu bwebeera,” Mayiga bweyategeezezza.
Yagambye nti newankubadde federo kati teriiwo, akimanyi bulungi nti ssosolya bwatafa atuuka kulyengedde. “Okunnyikiza obuweereza twefananyirize abalina Federo gyetwegomba, kyetaaga ensimbi nkumu. Bwotaba na ssente z’alutentezi, toyinza kukola mirimu negituukirira. Bwetunaafuna Federo, tujja kuba n’omutemwa okuva kumisolo egyikunganyizibwa mu Buganda naye nga tetunatuukaawo, twetaaaga okuba abayiiya,” Mayiga bwagambye.
Ategeezezza abakiise nti Ssabasajja yamutegeezeza abagambe nti kikulu nnyo okutuula awekusifu nebeetunulamu, okulaba nga bwebatambuza emirimu. “Kikulu okwongera mumaaso ebyo byetukoze obulungi ate n’okukkiriza ensobi ezikoleddwa n’okuzisalira amagezi,”
Mayiga bwagambye. Olusirika olugenda okuggwa ku lw’okutaano nga 29, Musenene, lwetwololera kumulamwa ogugamba, “Okufunira Obwakabaka ensimbi ez’olutentezi.”