Bya Ssemakula John
Kampala
Omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi omuggya, Maj. Gen Paul Lokech, yeeyamye okukolagana nabuli muntu yenna mu kitongole ne mu ggwanga okusobola okutwala ekitongole mu maaso.
“Nsuubiza okukolagana ne ttiimu gye nsanzeewo okusobola okukuuma bannayuganda n’ebintu byabwe,” Maj. Gen Lokech bw’ agambye leero ku Mmande ng’akwasibwa woofiisi.
Lokech agamba nti agenda kuzimbira ku musingi ababaddewo gwe baasima.
Amyuka ssaabaduumizi omuggya annyonnyodde nti obumu n’okukolera awamu bye bijja okuyamba ekitongole okugenda mu maaso kuba waliwo obwetaavu okuyambagana.
“Abaddewo yakola omulungi gwa ttendo okuva lwe yafuna woofiisi eno, nsuubiza okwongereza we yakomye. Sizze nga mukugu naye bwe tukolera awamu tujja kumalako.”
Ono asiimye Pulezidenti Museveni olw’okumulonda era ne yeeyama okukola omulimu ogumuweereddwa n’amaanyi ge gonna.
Bw’abadde awaayo woofiisi, abadde amyuka Ssaabaduumizi Maj. Gen. Muzeeyi Sabiiti, alaze ebimu ku bye/bakoze mu/kisanja kye mu myaka ebiri gy’amaze okuva lwe yalondebwa ku bukulu buno.
“Mu 2009 twazingako obubinja obwali butigomya bannayuganda obuwerera ddala 28.” Sabiiti bw’annyonnyodde.
Sabiiti agasseeko nti obuzzi bw’emisango bubadde bukendedde era nga bakizudde nti obuzzi bw’emisango obusinga bwekuusa ku bubbi era kye bakola kwe kulumba amaduuka agagula ebibbe.
Okusinziira ku Sabiiti, essira baaliteeka ku babbi mu kitundu kya Kampala n’emiriraano era ne bakwata abawerako.
Bw’abadde ayogera ku amudidde mu bigere, Sabiiti agambye nti Maj. Gen. Lokech amumanyidde akaseera era nga mukozi ate ayagala ennyo ensi ye.