Bya Musasi Waffe
Kampala
Omuddusi w’emisinde Winnie Nanyondo ayitiddwa okwetaba mu mpaka z’ensi yonna eza Doha Diamond League.
Nanyondo nga adduka mmita 800 ye munnayuganda yekka agenda okwetaba mu mbiro zino era ng’agenda kuba alwana okuteekawo likodi empya ku eyo gy’alina ey’okugiddukira eddakiika emu n’obutikitiki 58 awamu n’obutundutundu 63.
Ono agenda kuvuganya n’abaddusi abamaanyi mu nsi yonna okuli; Alemu Habit enzaalwa ya Ethiopia, Eunice Jepkoec okuva e Kenya n’Omungereza Oskan Clarke awamu n’abalala.
Zino empaka za Doha Diamond League zigenda kubeera za mulundi gwakuna ku kalenda y’empaka zino era ze zigenda okuggalawo ey’omwaka guno.
Emizannyo egy’enjawulo mu nsi yonna omuli n’emisinde egyali gyayimirizibwa olw’okutawaanyizibwa embeera y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona era kyegijje giddemu okutinta.