Bya Musasi Waffe
Kamwokya
Abamu ku babaka ababadde mu mukago gwa bannakibiina ki Democratic Party (DP) basaze eddiiro nebeegatta ku kibiina ki National Unity Platform (NUP) eky’ omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Ababaka abeegasse ku NUP kuliko; Nambooze (Mukono Municipality), Allan Ssewanyana (Makindye West), Moses Kasibante (Rubaga North), Medard Sseggona (Busiro East), Mathius Mpuga (Masaka Municipality) n’abalala n’omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleone.
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi, yasinzidde ku kitebe kyabwe e Kamwokya ku Lwokuna nategeeza nti lino ttofaali ddene lyebagasse ku lutalo lwabwe olw’okunnunula eggwanga.
“ Kimpa essanyu okulaba nga abakulembeze bano basazeewo okwegatta ku NUP kubanga tuludde nga tukolaganira wamu, kubanga twagala okubeera olutindo olugatta abantu tusobole okukomya obukulembeze bwa pulezidenti Museveni.” Kyagulanyi bweyategeezezza.
Ono era yasinzidde ku mukolo guno nategeeza nga bwebataddewo olunaku lwa nga 13/08 buli mwaka okujjukirirako bannakibiina ne bannakisinde ki People Power abazze battibwa ab’ebitongole bye byokwerinda .
Ku bano kuliko; Yasin Kawuma, Dan Kyeyune, Ritah Nabukenya, Charles Mutyabule n’abalala abafuna ebisago.
“Njagala okusaba bannaffe abali mu bibiina ebirala twegatte kuba tetuli balabe naye tuli baluganda kubanga gavumenti bwebeera etutulugunya tesosola ffenna etunyigira wamu.” Kyagulanyi bweyanyonyodde.
Kyagulanyi yasuubizza nti bajja kufuba okulaba nga ekigendererwa kyabwe kwe bafiira kituukirizibwa.
Mu kiseera kino ababaka ba palamenti 11 be bakagenda mu kibiina ki Democratic Party ekikulirwa Bobi Wine.