Bya Jesse Lwanga
Mukono
Omubaka w’ekibuga Mukono,Betty Nambooze Bakireke, alumbye poliisi y’e Mukono n’ateeka abakulira poliisi eno ku nninga ng’ayagala bayimbule abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) n’emmotoka ye ey’ebidongo gye baakwata.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/IMG_20201104_162145-1024x768.jpg)
Nambooze abadde omukambwe agambye nti atwala poliisi eno, Ismail Kifudde ne DPC, basussizza okubeera n’ekyekubiira n’okutinkiza ne bannakibiina kya NRM ng’eno bwe batulugunya abali ku ludda oluvuganya gavumenti.
Kigambibwa nti emmotoka y’ebidongo ey’ekika kya Canter nnamba UAR 206M wamu n’abawagizi b’ekibiina kya NUP, baakwatibwa bwe baali bayisa ebivvulu mu kibuga Mukono nga basanyukira ekya kakiiko k’ebyokulonda okukakasa omuntu waabwe, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021.
Nambooze ng’awerekeddwako abayambi be ne kkansala w’e Goma ku disitulikiti, Lukeman Ssegayi, balumbye poliisi eno wabula Afande Kifudde n’abategeeza nti talina buyinza kuyimbula bakwate kuba ensonga DPC Abubaker Musiho ne OCID Fred Oyaka, be bazirimu.
Kino kitabudde Omubaka n’ayombagana naye, Nambooze agambye nti omuwendo gw’abantu abali mu kaduukulu gubadde gweraliikiriza kyokka nga babadde baakamala okuggyamu omusibe alina ekirwadde kya Ssennyiga Corona, ekiteeka obulamu bw’abakwate mu matigga.
Nambooze kati ayagala aba Minisitule y’ebyobulamu okuyingira mu nsonga eno kubanga abapoliisi baagala kusaasaanya kirwadde kino mu Mukono.
Ono ayagala ekitongole ky’ebyobulamu okujja ku poliisi eno okulaba embeera abasibe gye balimu kuba badimaliriza nga bongedde okusaasaanya ekirwadde mu kkomera.
Omubaka Nambooze alabudde Afande Kifudde okukomya okukozesebwa bannabyabufuzi kubanga woofiisi gy’alimu ya bannayuganda so si bannabyabufuzi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, ategeezezza nti bano baakwatiddwa lwakuziimuula ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
Onyango ategeezezza nga bano bwe bagenda okusimbibwa mu kkooti, bavunaanibwe wabula nga fayiro yaabwe ekyali wa muwaabi wa gavumenti, era n’alabula okukwata buli agezaako okujeemera ebiragiro bino.