• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Nambooze agumbye ku poliisi y’e Mukono ng’abanja abawagizi ba NUP, abakwatibwa

Gambuuze by Gambuuze
November 5, 2020
in Amawulire
0 0
0
Nambooze agumbye ku poliisi y’e Mukono ng’abanja abawagizi ba NUP, abakwatibwa
0
SHARES
13
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jesse Lwanga

Mukono

Omubaka w’ekibuga Mukono,Betty Nambooze Bakireke, alumbye poliisi  y’e Mukono n’ateeka abakulira poliisi eno ku nninga ng’ayagala bayimbule abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) n’emmotoka ye ey’ebidongo gye baakwata.

Omubaka Nambooze nga agumbye ku poliisi e Mukono

Nambooze abadde omukambwe agambye nti atwala poliisi eno, Ismail Kifudde ne DPC, basussizza okubeera n’ekyekubiira n’okutinkiza ne bannakibiina kya NRM ng’eno bwe batulugunya abali ku ludda oluvuganya gavumenti.

Kigambibwa nti emmotoka y’ebidongo ey’ekika kya Canter nnamba UAR 206M wamu n’abawagizi b’ekibiina kya NUP, baakwatibwa bwe baali bayisa ebivvulu mu kibuga Mukono nga basanyukira ekya kakiiko k’ebyokulonda okukakasa  omuntu waabwe, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021.

Nambooze ng’awerekeddwako abayambi be ne  kkansala w’e Goma ku disitulikiti, Lukeman Ssegayi, balumbye poliisi eno wabula Afande Kifudde n’abategeeza nti talina buyinza kuyimbula bakwate kuba ensonga DPC Abubaker Musiho ne OCID Fred Oyaka, be bazirimu.

Kino kitabudde Omubaka n’ayombagana naye, Nambooze agambye nti omuwendo gw’abantu abali mu kaduukulu gubadde gweraliikiriza kyokka nga babadde baakamala okuggyamu omusibe alina ekirwadde kya Ssennyiga Corona, ekiteeka obulamu bw’abakwate mu matigga.

Nambooze kati ayagala aba Minisitule y’ebyobulamu okuyingira mu nsonga eno kubanga abapoliisi baagala kusaasaanya kirwadde kino mu Mukono.

Ono ayagala ekitongole ky’ebyobulamu okujja ku poliisi eno okulaba embeera abasibe gye balimu kuba badimaliriza nga bongedde okusaasaanya ekirwadde mu kkomera.

Omubaka Nambooze alabudde Afande Kifudde okukomya okukozesebwa bannabyabufuzi kubanga woofiisi gy’alimu ya bannayuganda so si bannabyabufuzi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, ategeezezza nti bano baakwatiddwa lwakuziimuula ebiragiro bya Ssennyiga Corona.

Onyango ategeezezza nga bano bwe bagenda okusimbibwa mu kkooti, bavunaanibwe wabula nga fayiro yaabwe ekyali wa muwaabi wa gavumenti, era n’alabula okukwata buli agezaako okujeemera ebiragiro bino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist