Bya Francis Ndugwa
Nakaseke
Eyaliko ssentebe wa NRM mu Buganda, Hajji Abdul Nadduli, ategeezezza nti abantu abavuddeyo okwesimba ku mutabani we Jakana Sulaiman Nadduli, ku kifo kya Nakaseke Central nti tebazze lwa kulumirirwa kibiina wabula baagala kwekolera ssente.
Nadduli okulya mu ttama, abadde awerekeddeko mutabani we Jakana abadde azzeeyo okwewandiisa oluvannyuma lw’okulemererwa olunaku lw’eggulo olw’ensobi y’amannya ge obutakwatagana nabiwandiiko bye.
“Bano abazze si bamwoyo gwa ‘spirit’ ya NRM, mwoyo gwa ‘spirit’ ya ssente, bazze kulya mu kintu anti akuwa okubaaga,” Nadduli bw’ategeezezza.
Nadduli annyonnyodde nti bangi ku bantu abaalwanirira gavumenti eno okujja mu buyinza baabivaako dda nga kizibu okusanga abantu nga ye ng’alwana okulaba nga wabaawo obwenkanya n’asaba abalonzi okumuwagira.
Oluvannyuma lw’okusunsulwamu Jakana ayogedde ku nsobi eyabaddewo yabadde ya linnya Nadduli eri ku Ndagamuntu ye okubula ku biwandiiko bye eby’obuyigirize n’akakasa nti obuyigirize obwetaagisa bwonna abulina.
“Bagambye nti erinnya ly’Owek. Nadduli siryange ku biwandiiko teririiko ate nga ku Ndagamuntu kweriri. Tugenze netubikolako naye omukisa olw’okuba nti gwabadde gutuli ku mugongo, bwe twatuuseeyo nga Hajji amanyiddwa nebagamba nti tetuyinza kulemesa mutabani katwanguyeeko ebintu bino asobole okuddayo okwewandiisa era nebabitereeza,” Jakana bw’annyonnyodde.
Ono aweze nga bw’agenda okuwangula akalulu kano kubanga ebintu bingi bye bakoze okulaba nga bakisitula.
Jakana agenda kuvuganya Hajjati Saidah Bbumba ne Godfrey Kiyingi abasunsuddwa olunaku lw’eggulo ku kifo kya Nakaseke Central mu Palamenti.
Abalala abasunsuddwa kuliko; Charles Kawuma Nsereko ayagala okuggyayo Ssemakula e Nakaseke South, n’Omubaka Sarah Najjuma.