Obwakabaka nga buyita mu kitongole kya Nnabagereka Development Foundation busse omukago n’ekitongole kya World Vision okukomya okutulugunya abaana. Nnabagereka asoose gwegumba kafubo n’abamu ku bakungu ba World Vision mu woofiisi ye nebabaako byeboogera.
Oluvanyuma begatiddwako Minisita w’amawulire, Cabinet, Lukiiko, Abagenyi era Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba ataddeko omukono ku lw’obwakabaka ate Jeremiah Nyagah nassaako omukono ku lwa World Vision.
Owek Kiyimba agambye nti okugunjula omwana tekitegeeza mutulugunya kubanga ebikolwa eby’ekko ebimukolebwako mu buto, akula nabyo ekimuviirako okubikola abalala. Agasseeko nti, okubeera n’eggwanga eritebenkedde obulungi, tuteekeddwa okulaba nti abaana bakula bulungi nga tebatulugunyiziddwa, nga bawabulwa bwebaba basobezza.