Musasi Waffe
Maama Nnabagereka Sylivia Nagginda atuuse mu kibuga Accra ekya Ghana, gyagenze okukiikirira Ssaabasajja Kabaka mu musomo ogukwata ku kukuuma obutonde bwensi. Omusomo gutegekeddwa ekibiina ky’amawanga amagatte, United Nations, wansi w’omulamwa, “Restoring Africa Landscapes-Uniting Actions Above and Below,” okuva nga October 29-30.