Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Minisita w’ebyettaka, eby’obulimi wamu ne Bulungibwansi mu Bwakabaka Owek. Hajati Nassejje Mariam Mayanja Nkalubo akubirizza abantu okwongera okukola ennyo basobole okwegobako obwavu.
Owek. Mayanja bino abyogedde attikula Amakula okuva eri abantu ba ssabasajja Kabaka okuva muggombolola ya Ssabagabo Ngogwe Kyaggwe ku Lwokutaano e Mmengo mu Kampala.
Minisita Mayanja yasabye abakulembezze kumitendera egy’ enjawulo okwetikka obuvunaanyizibwa bw’okulambula n’okusomesa abantu ku by’obulamu kubanga obulamu bwe bugagga.
Kattikiro webyaalo bya Ssabasajja Luutu Moses yabasabye okuyingiza abaana abato mu nteekateeka zonna ezirimu okutuukirizza ennono.
Eyakulembeddemu abantu bano Ssalongo Kisekka Livingstone era nga ye mwami we Ggombolola ye Ngoggwe, yalaze okusomoozebwa okuliwo naddala okw’ abavubi okugobwa ku nnyanja ate nga gwemulimu kwebalya.